Amawulire
Omusajja akutte omwana
Poliisi ye Lukaya mu disitulikiti ye Kalungu eriko landiloodi ow’emyaka 50 gwekutte nga emuvunaana kusobya ku kawala komupangisa we ak’emyaka 12. Alex Jemba y’aleppuka n’ogw’obwasseduvuutu nga era maama w’omwana ono agamba landiloodi ono yageze taliiwo n’amalira ejjakirizi ku kawala ke. Maama agamba abaana bwebaabadde bazannya […]
Aba Taxi beedimye
Waliwo ekiwayi ky’aba taxi mu keediimo akali e Kayabwe abavudde mu mbeera nebasalawo okusuula emisanvu mu bubuga obw’enjawulo ku luguudo lw’e Masaka nga bano bagenda bayiwa abasaabaze abatikkiddwa mu motoka ezewaggudde eza paaka y’e Kayabwe nezisalawo okukola. Waliwo n’emotoka ekubiddwa n’eyiibwa endabirwamu ku siteegi y’omu […]
Abagambibwa okubeera abatujju bazze mu kkomera
Abantu 10 abaakwatibwa omwaka oguwedde ku misango gy’obutujju bongeddwayo ku alimanda e Luzira oluvanyuma lwamunnamateeka w’oludda oluwaabi Edward Muhummuza okusaba kkooti akadde akalala okwongera okunonyereza ku nsonga eno. Bano babadde maaso g’omulamuzi wa kkooti ya Buganda Road Sanyu Mukasa era omusango n’agwongerayo okutuusa nga 19th […]
Kabaka avumiridde okutta Abasiramu
Ssabasajja Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Muteebi avumiridde ebikolwa eby’okutta abasiramu ebikyasse enyo ensangi zino. Mububaka bwe obw’omwaka, Omutanda asabye ebitongole ebikuuma dembe okwongera okukola okunonyereza ku kiki ekiviraako abasiramu okutingana, kubanga ebikolwa bino biteeka ebyokwerinda by’eggwanga mu mattigga. Obubaka bw’omutanda buze ng’abakulembeze b’abayisiramu babiri […]
Omulalu asse Namukadde
Entiisa ebutikidde abatuuze ku kyalo Kiguma mu Gombolola ye Apuyo mu district ye Kyegegwa omulalu ategerekese nga Patrick Magezi atemera mu gy’obukulu 20 gwebabadde basabira bwavudde mu mbeera n’atematema Namukadde Consolota Nakibuuka omutwe, okutuusa lwamusse. Magezi kati atwaliddwa mu ddwaliro lye Kyegegwa okwongera okwekebejjebwa.