Olwali

Ekiyenje kibizadde

Ali Mivule

January 29th, 2015

No comments

Ebiyenje bitawaanya bangi nga n’ababeera mu Taiwan bibalumba Kati omukazi abadde ayagala okutta ekiyenje n’akikumako muliro amalirizza effumbiro alyokyezza Omuliro guno alese gwaaka n’ateekako kakokola tondeka nyuma.

Salva Kir owa South Sudan mulwadde

Ali Mivule

January 29th, 2015

No comments

Tukitegeddeko nti omukulembeze w’eggwanga lya South South Salva Kiir mulwadde. Ono alwalidde mu kibuga Adisababa gyeyagenze okuteesa ku ngeri y’okumalawo olutalo mu ggwanga lye. Wabula abayambi be bavuddeyo mangu okutegeeza nti Kiir tali bubi nnyo nebawakanya n’ebigambibwa nti yatwaliddwa. Kiir, ow’emyaka 63 y’abadde akulembera eggwanga […]

Kokoolo alina akakwate ku bitundu

Ali Mivule

January 29th, 2015

No comments

Eddwaliro lya kokoolo mu Uganda limenye ebika bya kokoolo n’engeri gy’akosaamu ebitundu ebitali bimu Bano batunuulidde kokoolo ow’’omu lubuto, ow’ekibumba n’owa mayuuga ng’ono asinga kukwata baana Omusawo omukugu okuva mu ddwaliro lya kokoolo Dr. Fred Okuku agamba nti abadde ababeera mu bitundu bya WestNile bafuna […]

Akawuka ka Ebola kakyuuse

Ali Mivule

January 29th, 2015

No comments

Banasayansi  abalondoola ekirwadde kya Ebola mu ggwanga lya Guinea bategezezza ng’akawuka akaleeta ekirwadde kino bwekatandise okukyuuka mu nkula yaako. Abakugu bano ku ttendekero lya  Pasteur mu ggwanga lya Bufaransa baagala kati kumanya oba akawuka kano kati keyongedde amaanyi mu kukwata okuva ku Muntu omu okudda […]

Abasuubuzi bali ku mugano e Moroto

Ali Mivule

January 29th, 2015

No comments

Abasuubuzi bakozesezza akakisa k’enteekateeka z’amagye okukuza olunaku lwa Terehesita mu disitrulikiti ye Moroto ne baseera emmere mu kitundu kino. Emikolo gy’omwaka guno gitambulira ku mulamwa ogugamba nti okujaguza eky’okugatta ekitundu kye Karamoja ku by’enfuna by’eggwanga. Kati essowaani y’akawunga n’ebijanjaalo ya 3500 okuva ku 2500 sso […]

Abakozi batabuse ku nsonga z’abasomesa

Ali Mivule

January 29th, 2015

No comments

Ekibiina ekigatta ebibiina by’abakozi byonna mu ggwanga abakozi mu ggwanga kyegasse ku kibiina ekigatta abasomesa mu ggwanga okubanja obuwumbi 25 ezabaweebwa omukulembeze w’eggwanga ziyambe ebibiina byabwe eby’obwegassi. Ekibiina kino kiwakanya eky’okuyia ensimbi zino mu kibiina ekiwozi ky’ensimbi ekya microfinance support center kubanga amagoba gandiba waggulu. […]

Abakyala bangi tebafaayo kukubwa- Alipoota

Ali Mivule

January 29th, 2015

No comments

Abakyala 58 % wano mu Uganda balowooza nti kigwanidde okukuba abakyaala bwogeregeranya n’abaami  44% . Kino kyeyolekedde mu alipoota y’ekibiina ekigatta amawanga ga Africa ey’omwaka guno ogwa 2015 eraze nga  omuze gw’okutulugunya  abakyaala, abawala wamu n’abalenzi abato bwegukyagaanye okuggwa mu ssemazinga wa Africa. Ekikwaasa ennaku […]

Teri kuwandiika ku Namwandu wa Kasiwukira- KKooti

Ali Mivule

January 29th, 2015

No comments

KKooti eweze bannamawulire okuwandiika ku namwandu wa Kasiwukira Sarah Nabikolo mu ngeri ettatana erinya lye ku musango gw’okutta bbaawe ogukyawulirwa mu kkooti. kino Kiddiridde omukyala ono okwemulugunya mu kkooti nti waliwo empappula z’amawulire ezamusingisa edda omusango okusinziira ku ngeri gyeziwandiikamu amawulire. Nga ayita mu munnmateekawe […]

Ogwa ba maseeka gujulidde: abasigaddewo bawera

Ali Mivule

January 29th, 2015

No comments

Omusango gwabamaseeka 18 abavunaanibwa okutta abakulembezwe b’abayisiraamu 2  gwongeddwayo okutuusa nga 12 February omwezi ogujja. Kino kiddiridde oludda oluwaabi olukulembeddwamu Doreen Elima okutegeeza kkooti nga okunonyereza ku musango guno bwekukyagenda mu maaso era n’asaba kkooti akadde akalala polisi esobole okukomekkereza okunonyereza kwaayo. Ku bavunaanibwa kuliko […]

Munnamwulire eyakubwa atubidde- Poliisi tennaba kusasula

Ali Mivule

January 29th, 2015

No comments

Munnamawulire eyakubibwa owa poliisi n’amutuusako obuvune  akyakonkomaliridde mu ddwaliro e Nsambya. Kino kivudde ku poliisi okulememerwa okusasula ebisale by’eddwaliro gy’amaze akabanga ng’ajanjabibwa. Andrew Lwanga asiibuddwa okuva mu ddwaliro lino enkya ya leero naye nga tebamuta  kubanga bamubanja akakadde kamu n’emitwalo abiri ezirina okusasulwa poliisi. Tugezezzaako […]