Amawulire

Abaana 2 bafiiridde mu muliro

Ali Mivule

June 24th, 2014

No comments

Abaana babiri basirikkidde mu muliro ogukutte enyumba mwebabadde balekeddwa. Enjega eno ebadde Bugembe mu disitulikiti ye Jjinja. Abaana abafudde kuliko ow’emyaka 3 n’omulala ow’emyaka 7. Okusinziira ku ssentebe w’ekitundu kya Wanyama Road Moses Kidaaga ,bakadde b’abaana bano babalese mu nyumba ekiro ate nebalekako akasubbaawa era […]

Eby’okwerinda ku palamenti bikaligiddwa- enkalala zisusse

Ali Mivule

June 23rd, 2014

No comments

Eby’okwerinda ku palamenti byongedde okukaligibwa oluvanyuma w’abavubuka okukuba poliisi akawunika nebayingiza embizzi. Robert Mayanja ne Norman Tumuhimbise baakwatibwa olw’okubiri oluwedde  nga baliko obubizzi bubiri bwebasiize langi ya kyenvu nga bavumirira enguzi n’ebbula ly’emirimu. Ababaka ba palamenti, abakozi ku palamenti n’ano abakozi mu ofiisi y’omukulembeze w’eggwanga […]

Abasiyazi gubasinze

Ali Mivule

June 23rd, 2014

No comments

Omusango ogwaali gwawaabwa abali b’ebisiyaga gugobeddwa mu kkooti nebalagirwa n’okusasula. Aboogerwaako baali batudde mu Lukungaana ku resort beach Entebbe nelurinyibwaamu eggere poliisi ng’ekolera ku biragiro bya minisita akola ku mpisa n’obuntu bulamu Rev Father Simon Lokodo. Omulamuzi Steven Musota agambye nti abawaaba tebasobola kwogera ku […]

Eyatta omwana atuuyana-abalwanidde omukazi bakwatiddwa

Ali Mivule

June 23rd, 2014

No comments

Waliwo omujaasi akwatiddwa ku bigambibwa nti yatta omuntu. David Mulika bamulumiriza okukuba amasasi agatta omwana ow’emyaka 15 eyategerekeka ko erya Priscilla mu bitundu bye Nabbingo. Omujaasi ono okutta omwana yali alwanyisa abazigu abaali balumbye maama w’omwana ono Agnes Nanungi Abazigu bano baali basimye ekituli mu […]

Kkooti y’amaggye efunye ssentebe omuggya

Ali Mivule

June 23rd, 2014

No comments

Kkooti y’amaggye erina ssentebe omupya Pulezidenti Museveni alonze  Maj. Gen. Levi Karuhanga okukulira kkooti eno. Maj. Gen. Karuhanga, nga yeeyali akulira amaggye ga Uganda e Somalia azze mu kifo kya Brig Moses Ddiba Ssentongo ng’ono ekisanja kye kyaggwaako omwezi oguwedde. Amawulire g’okulonda ssnetebe wa kooti […]

Abakolera e Sudan bagaala bukuumi

Ali Mivule

June 23rd, 2014

No comments

Bannayuganda abakkakalabiza egyaabwe mu ggwanga lya South Sudan bagaala amaggye ga Uganda gongerwe mu kitundu kino. Bano bagamba nti kino kyakulongoosa eby’entambula basobole okukola nga tebatya Bino biggyidde mu kaseera ng’amaggye ga Uganda gakalabula ku bakwatammundu abongedde okuteega ku nguudo okunyagulula abantu Ssentebe wa bagoba […]

Abe Kasese bakaaba- teri mazzi

Ali Mivule

June 23rd, 2014

No comments

Disitulikiti ye Kasese ali mu bulabe bw’okufuna ekirwadde kya Kkolera Kino kivudde ku mazzi aganjudde bukyanga mugga kwa Nyamwamba gubooga nga kati abaayo tebakyalina mazzi mayonjo. Omubaka omukyala owe Kasese Winnie Kiiza sagamba nti ekibuga kye Kasese kimaze ssabbiiti kati kumpi bbiri nga tekirina mazzi […]

Aba paakayaadi bakkirizza okwewandiisa

Ali Mivule

June 23rd, 2014

No comments

Abasuubuzi mu katale ka Paakayaadi kyaddaaki bakkirizza okwewandiisi. Abakulu bano baali bagaana nga bagamba nti tebamanyi lwaki beewandiisa Wabula bano yadde embeera tekyuuse kuluno bakkirizza okwewandiisa RCC wa kampala Aisha Kabanda y’akulembeddemu omulimu gw’okubasendasenda beewandiise nga y’aleese n’abawandiisa Omuwandiisi w’akatale kano, john Bosco Serwadda Kabanda […]

Abadde alindiridde akalabba ayimbuddwa

Ali Mivule

June 23rd, 2014

No comments

Omukyaala enzaalwa ye Sudan eyali yasalirirwa akalabbaolw’okuva mu busiraamu kyaddaaki ayimbuddwa Ekibonerezo kino kijjiddwaawo kkooti ejulirwaamu Omukyala ono yadde yali musiraamu yafumbirwa omusajja omukulisitaayo era n’agaana okumuvaako nga kino okusinziira ku mateeka ga Sharia, ekibonerezo kalabba. Ekibonerezo ekyaweebwa omukyala ono kyavumirirwa nnyo okwetoloola ensi yonna

KKampuni egobye abakozi bonna

Ali Mivule

June 23rd, 2014

No comments

Mu ggwanga lya America kkampuni ya zzaala bigisobodde n’egoba abakozi bonna Abamu bagaanye era ky’ekoze kwekubasasula bagende Bano baweebwa emitwaalo gya doola ebiri n’ekitundu okubivaamu. Aba kkampuni eno bagamba nti bagaala kugoba bakozi bonna kubanga tebamanyi byebagala nga y’ensonga lwaki bonna babagobye baleete abapya.