Amawulire

Owa Bodaboda Yeyambulidde Abawambye Pikipiki ye

Ali Mivule

June 27th, 2014

No comments

  Omuvuzi wa Bodaboda wano mu Kampala ku shoprite  yeyambuddemu engoye nga yekalakaasa oluvanyuma lwa banne okuwamba pikipiki ye lwakutikira basaabaze ku siteegi yaabwe. Omusajja ono atategerekese manya  talinze kumutwala ku poliisi olwo neyeyambula olugoye lumu kulumu olwo nakunumba bukunya. Olw’okutya okwesitazza abantu, banne bamuddizza […]

Omukazi Ayombedde Mu Bbaala neyesuula Mu Kidiba

Ali Mivule

June 27th, 2014

No comments

  Mu disitulikiti ye  Rakai Omukazi o’wemyaka 50 yesudde mu kidiba oluvanyuma lw’oluyombo lweyafunye ne banywi banne  mu bbaala . Venerandah Nzaliraki nga mutuuze we Kyampisi asangiddwa nga omulambo gwe guseyeyeza ku mazzi amakya galeero. Beyabadde nabo bagamba nti munnaabwe ono yavudde mu bbaala eno […]

Basatu Bafiiridde Mu Kabenje

Ali Mivule

June 27th, 2014

No comments

  Abantu 3 bebakafa oluvanyuma lw’akabenje  akagudde ku luguudo lwa Lugogo By-pass. Akabenje kano kavudde ku mmotoka ekika kya RAV 4 UAH 762w ebadde eva e Jinja okusabala ababadde ku gaabwe. Adumira poliisi ya kiira road Denis wanyama ategezezza nga bbo 7 bwebabuuse n’ebisago ebyamanyi […]

Mukyala wa kakoma awakanya eby’okukyusa oluyimba lw’eggwanga

Ali Mivule

June 26th, 2014

No comments

Oluvanyuma lw agavumenti okutegeeza nga bw’egenda okukyuusa mu luyimba lw’eggwanga, ab’amaka g’eyayiiya oluyimba luno bagenda mu kkooti George William kakoma yeeyayiiya oluyimba luno kyokka nga weyafiira ng’akyabanja Kati namwandu we Tereza Kakoma agamba nti beebalina obuyinza ku luyimba luno era nga tebannaba kubebuuzaako nga bagenda […]

DFCU etuuyanye nga kasitoma agibanja

Ali Mivule

June 26th, 2014

No comments

Poliisi yeebulungudde Banka ya DFCU ku kitebe kyaayo ekikulu ku luguudo lwa Jjinja road. Emirimu gisanyaladde nga tekinnaba kutegerekeka kiki ekireese poliisi. Obuzibu buvudde ku kasitoma omu ategerekese nga Geoffrey Amasha eyawaaba banka eno ng’agamba nti yeewola ssente obukadde 82 era n’azisasula. Wabula banka eno […]

Omwoleso gwa bannakyeewa- Gavumenti esiimye byebakola

Ali Mivule

June 26th, 2014

No comments

Gavumenti n’ebibiina by’obwanakyewa bisanye okukolaganira awamu okusobola okuletawo enkulakulana mu ggwanga.. Minisita omubeezi alondoola ebynfuna by’eggwanga Henry Banyenzaki agamba nti ebibiina bino bikola omulimu munene nyo okulondoola enteekateka za gavumenti ekireesewo embalirira enungi eri gavumenti ku pulogulamu zaayo. Bino Banyenzaki abyogeredde ku mwoleso gw’ebibiina by’obwanakyewa […]

Abakozi mu ggaali y’omukka beediimye

Ali Mivule

June 26th, 2014

No comments

Akediimo k’abakozi ba kampuni y’eggaali y’omukka abasoba mu 700 kakyagenda maaso nga bemulugunya olwabanaabwe 3 abagobeddwa mungeri etamatiza.     Abakozi bano bagamba kaluma nywera yenna ava ku ndagaano ezabawebwa kampuni eno eya  Rift valley railways oluvanyuma lw’okugula ekitongole ky’eggali y’omukka ekya  Uganda railways corporation. […]

Ka dole akasoma amawulire kazze

Ali Mivule

June 25th, 2014

No comments

Bannasayansi bayiiyiza ka robot akasoma amawulire nga kano kassaamu n’ebinonoggo Ka robot kano katandikidde mu ggwanga lya Japan era nga kasomyeeko amawulire agakwata ku Musisi eyise mu kitundu kino. Abakoze ka dole kano bagamba nti bagaala bafune kati n’akasoma amawulire ga TV Ka dole kano […]

Embwa ebadde ku mulimu ebuze

Ali Mivule

June 25th, 2014

No comments

Tewali mulimu mwangu mu nsi eno. Mu ggwanga lya Bungereza, Embwa ya poliisi enkozi y’olusu ebadde egoba ekisolo egobye okutuuka lw’ebuze Embwa eno emaze ennaku nga telabikako era ng’omuyiggo ogwassiddwaawo poliisi n’abatuuze ku byaalo ebitali bimu kyekiyambye okuzuula embwa eno. Embwa eno ensangiddwa nga teriiko […]

Ghana afunye ssente

Ali Mivule

June 25th, 2014

No comments

Gavumenti ya Ghana ewerezza  obukadde bwa doola  busatu eri tiimu yaayo e Brazil mu mpaka z’ekikopo ky’ensi yonna. Amyuka minisita akola ku by’emizannyo Joseph Yamin ategeezezza ng’abazannyi bwebabasabye okubawereeza ensimbi enkalu nga y’ensonga lwaki bawerezza ssente zino ku nyonyi Tiimu ya Ghana ezannya nkya nga […]