Ebyemizannyo

tiimu y’okubaka esiimiddwa

Ali Mivule

June 2nd, 2014

No comments

Bannamawulire abasaka agemizannyo balonze team ya Uganda eyomuzannyo gwokubaka eya She Pearls kubwomuzanyi womwezi oguwedde olunaku lwa leero. Team eno okuwangula kidiridde okukola obulungi mumpaka zabato ezibadde ziyindira mu gwanga lya Botswana omwezi oguwedde. Team eno yawangula Kenya kubugoba 40-24 mu finals okuwangula ekikopo mumpaka […]

Ebivavava birungi ku baana

Ali Mivule

June 2nd, 2014

No comments

\   Abaana abato basobola okwagala okulya ebivavava ssinga bitandika kubaweebwa nga tebannaweza myaka 2 nebasobola okubimanyiira Abaana bangi bagaana okulya ebivavava yadde nga birungi nnyo eri obulamu bwaawe Ebivava nno bino bitangira endwadde nyingi mu baana nebabeera nga balamu bulungi Abazadde bakubirizibwa okuwa abaana baabwe […]

Namugongo awuuma- abasuubuzi bakaaba

Ali Mivule

June 2nd, 2014

No comments

Bannaddiini ku bigwa by’abajulizo e Namugongo basabye abalamazi bonna okukuuma emirembe nga beewala ebikolwa by’effujjo Atwala ekiggwa ky’abakulisitaayo e Namugongo Rev. Canon Henry Segawa agamba nti abakkiriza bangi beerabira okusaba nebadda mu kugangayira ekintu ekikyaamu Ono agamba nti basuubira abalamazi enkumi ssatu okwetaba mu kusaba […]

Bamukwatidde mu bwenzi

Ali Mivule

June 2nd, 2014

No comments

Abatuuze ku kyaalo Kazo mu disitulikiti ye Kiruhura balabye katemba atali musasulire omusajja bw’akutte mukyala we lubona nga yegadanga ne mukwano gwe Erias Ninsiima bano okubagwaako asoose kudda waka n’asanga omwana waabwe ow’emyezi omunaana ng’ali ku lubalaza akaaba ng ataliiko afaayo Omusajja ono atandikiddewo omuyiggo […]

Namukadde yeesuuba

Ali Mivule

June 2nd, 2014

No comments

Namukadde w’emyaka 70 gwebawadde ekuuma akeevuuma  asazeeo kutandika kuzannya gogolo. Omukadde ono akuuma kano akakeera bukeezi nga talina njawulo na bavubuka b’olaba ku nguudo ababuukira taxi. Omukadde ono  alabiddwaako mu kibuga nga yesaza ng’owa akagatto akamu era ebifananyi ebikwatiddwa ng’azannya bitunda nga keeki

Abalina Kkolera beeyongedde

Ali Mivule

June 2nd, 2014

No comments

Nga 2 bebakafa, omuwendo gwabantu abakakwatibwa ekirwadde kya Kkolera mu district ye Namayayingo gweyongedde okulinya okutuuka ku bantu 54, yadde nga ministry y’ebyobulamu n’abakulira ebyobulamu ku district bakola ekisoboka okutakiriza embeera. Omubaka wa pulezidenti mu district eno  Mpimbaza Ashaka ategezezza nga kati abamu ku balina […]

Owa poliisi abadde ava e Namugongo attiddwa

Ali Mivule

June 2nd, 2014

No comments

Omusirikale wa poliisi y’ebidduka nga abadde akolera ku poliisi y’e Wandegeya akoneddwa mmotoka emutiddewo wali ku luguudo lwa Northern by pass amakya galeero. Akabenje kano kagudde wali e Kiwatule nga ono abadde ava Namugongo gyeyabedde asuze nga akola. Okusinziira ku atwala poliisi y’eWandegeya eyebiduka Justus […]

Amayinja gatutta- abatuuze e Mukono bagenze mu kkooti

Ali Mivule

June 2nd, 2014

No comments

Abatuuze okuva mu byalo 3 basazeewo okukuba kampuni yabakyayina eyasa amayinja mu mbuga z’amateeka lwakubamalako mirembe. Bano nga bayita mu kibiina ekirwanirira eddembe ly’obuntu n’enkulakulana ekya center for human and development, abatuuze bemulugunya nti bazze bekubira enduulu olw’okukalubirizibwa kwebayitamu buli kampuni eno bweyasa amayinja nga […]