Ebyobusuubuzi

Aba paakayaadi bakkirizza okwewandiisa

Ali Mivule

June 23rd, 2014

No comments

Parkyard biz

Abasuubuzi mu katale ka Paakayaadi kyaddaaki bakkirizza okwewandiisi.

Abakulu bano baali bagaana nga bagamba nti tebamanyi lwaki beewandiisa

Wabula bano yadde embeera tekyuuse kuluno bakkirizza okwewandiisa

RCC wa kampala Aisha Kabanda y’akulembeddemu omulimu gw’okubasendasenda beewandiise nga y’aleese n’abawandiisa

Omuwandiisi w’akatale kano, john Bosco Serwadda Kabanda atutegeezezza nti bakooye okusika omuguwa nga y’ensonga lwaki beewandiisizza.

Wabula yye RCC Kabanda agamba nti eno ntandikwa ya kumalawo ntalo mu katale kano