Amawulire

Akabenje kasse 4

Ali Mivule

June 6th, 2013

No comments

Abantu bana bafudde n’abalala 8 ne babuukayo n’ebisago eby’amanyi oluvanyuma lw’akabenje akaagudde ku luguudo oluva e Jinja okudda e Iganga. Akabenje kano kagudde mu kifo ekiyitibwa Wandago okumpi n’akabuga k’e Mayuge , mmotoka ya takisi namba UAM 340 Y bw’etomereganye n’eya kabangali namba UAT 827E. […]

Buli kimu kisoboka-Museveni

Ali Mivule

June 5th, 2013

No comments

President museveni asabye abakulembeze mu mawanga ga Africa okukozesa kyebalina okuleetawo enkulakulana   Bino president abyogedde ali mu Lukiiko lw’ababaka mu palamenti ya East Africa wano mu Uganda President agambye nti Africa elimu ebyobugagga bingi kyokka nga amawanga g’ebweru aga bazungu geegafunamu buli lwegabaako kyegazuula […]

Tiimu ya Express elondeddwa

Ali Mivule

June 5th, 2013

No comments

Omutendesi wa team ye Express Sam Simbwa alonze abazanyi 18 abagenda ne team eno e Dafur mu Sudan mumpaka za Cecafa club championships. Team eno esuubirwa okusitula nga 15th omwezi guno,egenderako abakungu 5 nga bakulembedwamu Issa Magoola owa Fufa. Empaka zino zitandika nga 18th omwezi guno […]

Emisinde kya Kyabazinga

Ali Mivule

June 5th, 2013

No comments

Company ya Mtn etaddewo ebirabo munsimbi eziwereraddala shs3m eri abawanguzi nabanakola obulungi mumpaka zemisinde eza Kyabazinga Championship ezigenda okuyindira mukisaawe Bugembe  e Jinja kulwomukaaga lwa week eno. Zino empaka zamulundi gwa 8 ngazitegekebwa era nga nabalabi kumulundi guno bagenda kuyingirira bwerere. Kyo ekibiina ekikulembera omuzanyo gwemisinde mugwango […]

Walusimbi ssi wakusamba

Ali Mivule

June 5th, 2013

No comments

Omutendesi wa tiimu y’eggwanga Micho  Mulitin akakasizza nga omuzannyi Godfrey Walusimbi bw’atagenda kukomawo waka kwetaba mu mupiira gw’olwomukaaga.   Walusimbi ono alemereddwa okukwatagana ne tiimu gy’asambira mu Congo Kati Alex Kakuba ne Joseph Ochaya bebasigaddewo okuzannya mu namba ye mu mupiira wakati wa Uganda cranes […]

Swiiti w’ebbeere

Ali Mivule

June 5th, 2013

No comments

Kampuni emu mu ggwanga lya America etandise okukola swiiti w’abaana ng’emukola mu mata g’amabeere.   Swiiti eno omuwa omwana n’atajula kuyonka beere   Nnanyini kkampuni eno, Jason Darling agambye nti akikoze oluvanyuma lw’okulaba nga mikwano gye gyonna kyenkana gilina abaana ate nga ba maama baabwe […]

Ente esobeddwa

Ali Mivule

June 5th, 2013

No comments

Abaddukirize bayitibwa okutaasa engeri ezitali zimu. Abamu bayitibwa kutaasa kappa, mmese n’ebilala naye nga ku luno abaddukirize bano bayitiddwa kutaasa nte eyingizza omutwe mu kituli ekili ku muti negulaalirayo.   Ente eno yabadde egezaako kukunukkiriza muddo ogwabadde wakati w’emiti ebiri okuva ku lunaku lwa bbalaza […]

Ebbula ly’omusaayi mu malwaliro

Ali Mivule

June 5th, 2013

No comments

Emilimu gitandise okusanyalala mu ddwaliro e Mulago olw’ebbula ly’omusaayi.   Mu ddwaliro lye Mitima ku buli balwadde basatu balongosaako omu olw;ensonga ntia basigade baba tebalina musaayi   Omu ku bakola awakeberebwa omusaayi, John Kebbo agamba nti omusaayi ogusinze okubula gwegwekika kya o Wabula ministry y’ebyobulamue […]

Kkampuni zigaddwa

Ali Mivule

June 5th, 2013

No comments

Kkampuni bbiri ezikola obuveera zigaddwa lwakubeera mu mbeera mbi.   Abakozi mu kkampuni eno beebadde basing okubonaboona ng’abasinga bavunze engalo n’ebigere olwwedaggala lyebakwatamu n’okulinnyamu.   Kkampuni zino kuliko emanyiddwa nga Lida ne Eon nga zonna zikolala Mbalala mu district ye mukono. Abalwanirira eddemeb ly’abakozi beebasooka […]

Abakozi beekalakaasizza

Ali Mivule

June 5th, 2013

No comments

Abakozi mu kkampuni epakira ebintu eya Riley besudde akambayaaya nebalumba abakozi baabwe nga babalanga kubasasula nsimbi za lubatu.   Abakozi bano basoose kugumba ku kitebe ky’esaza mu district ye mukono nga bawakanya eky’okubasalanga omusolo ku busente obutono bwebabawa.   Abakozi bano bagamba nti buli lweboogerako […]