Amawulire

Buli kimu kisoboka-Museveni

Ali Mivule

June 5th, 2013

No comments

M7 EALA

President museveni asabye abakulembeze mu mawanga ga Africa okukozesa kyebalina okuleetawo enkulakulana

 

Bino president abyogedde ali mu Lukiiko lw’ababaka mu palamenti ya East Africa wano mu Uganda

President agambye nti Africa elimu ebyobugagga bingi kyokka nga amawanga g’ebweru aga bazungu geegafunamu buli lwegabaako kyegazuula

Ono agamba nti wabula obudde tebunnayita ng’abakulembeze basobola okwekolamu omulimu kati ebintu nebidda ku mulamwa

 

Okwogera kwa president kuzze ng’ababaka bano bakamala kati eno sabiiti ya kubiri nga bali mu Uganda bateese ku bintu ebitali bimu

 

Mu byebasazeewo okutereeza kwekujjawo emisolo egikyalemesezza ebyemaguzi okutambula obulungi wakati w’amawnaga agali mu mukago

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *