Amawulire

Amateeka ga palamenti gayisibwa mu butuufu

Amateeka ga palamenti gayisibwa mu butuufu

Ali Mivule

June 30th, 2015

No comments

Nampala wa gavumenti Ruth Nankabirwa awakanyizza ebigambibwa nti ensangi zino palamenti yegumbulidde omuze ogw’okuyisa amateeka ng’ababaka tebawera . Bw’abadde ayogerako ne bannamawulire, Nankabirwa  agambye nti palamenti  eyogerwako y’eyisa amateeka omuli n’agagifuga , kale nga ate teyinza kukulemberemu muze gwakugamenya. Nankabirwa agamba nti abantu basaana baawule […]

Bafunye ekyuuma ky’omutima

Bafunye ekyuuma ky’omutima

Ali Mivule

June 30th, 2015

No comments

Abalwadde abakozesa eddwaliro lya Rugarama mu kibuga kye Kabale bafunye ekyuma ky’emitima Ekyuma kino ekibalirirwaamu obukadde 150 kiwereddwaawo eggwanga lya Bungereza nga liyita mu kibiina ky’obwa nnakyeewa ekya Alongside Africa. Akulembeddemu okugaba ekyuma kino Lawrence Titterton y’akwasizza atwala eddwaliro Dr Gilbert Mateka ekyuma kino n’ategeeza […]

Obujjanjabi bubulamu

Obujjanjabi bubulamu

Ali Mivule

June 30th, 2015

No comments

Abantu mu gombolola ye Kasawo n’ebyalo ebyetoloddewo bagamba tebafuna bujjanjabi bwetaagibwa okuva mu ddwaliro lya gavumenti erya Kiyagi Health Centre 2. Bagamba eddwaliro lino libali wala nnyo atenga bwebatindigga eggendo okutuukayo babagamba teri eddagala ssonga n’abasawo balagajjavu. Bino abatuuze babitegeezezza bannakyeewa aba Health Service Derivery […]

Etteeka ku nkozesa ya Asidi mu ggwanga.

Etteeka ku nkozesa ya Asidi mu ggwanga.

rmuyimba

June 30th, 2015

No comments

    Minisitule y’ebyobulamu eteekateeka kukolagana na poliisi okulaba nga bavaayo n’etteeka ku nkozesa ya Asidi mu ggwanga. Okusiziira ku kunonyereza okwakoleddwa ekibina ekigatta abantu abasimatuka asidi , abantu abasoba mu 400 bazze bayiirwa asidi okuva mu 1985. Minisita w’ebyobulmu omubeezi avunanyizibwa ku guno naguli […]

Kalangala ereebya mu siriimu

Kalangala ereebya mu siriimu

rmuyimba

June 30th, 2015

No comments

      Disitulikiti ye Kalangala erangiliddwa nga ekitundu ekikyasinze okubeeramu obulwadde obwa mukenenya mu gwanga lyona olw’obungi bw’abantu abalina obulwadde abeyongera buli kadde. Bino byogedwa minister avunanyizibwa ku by’obulamu omubeezi Sarah Opendi, bwabadde alambula amalwaliro awamu n’abantu baabadde bajanjabibwa mu Gombolola ye Bujumba. OKusinziira […]

Aba DP ssibakukyusa nonda

Aba DP ssibakukyusa nonda

Ali Mivule

June 30th, 2015

No comments

Ab’ekibiina kya DP baweze obutakyusa mu ngeri gyebalondamu abakulembeze baabwe. Abamu ku bannakibiina baaweze okuzira ttabamiruka w’ekibiina kino singa enonda y’abakulembeze tekyukamu. Omwogezi w’ekibiina kino  Paul Kenneth Kakande agamba enkola eyayitibwamu okulonda bassenkagale b’ekibiina kino abaaliko okuli Joseph Kasolo ,Mugwanya ,Ben Kiwanuka, Paul semwogerere ne […]

Bannayuganda balabuddwa

Bannayuganda balabuddwa

rmuyimba

June 30th, 2015

No comments

Minisita omubeezi ow’ensonga z’amawanga amalala Okello Oryem alabudde bannayuganda okwewalira ddala okukyamukirira nga eggwanga lyetegekera akalulu ka 2016. Oryem abadde ayanukulu omu ku bakugu mu nsonga z’ebyobufuzi Mwambusya Ndebesa eyategezezza nga Uganda bweyolekedde akasambattuko awatali pulezidenti Museveni. Wabula Oryem agamba embeera y’ebyobusufi eriro tesobola kuvaako […]

Ensalo ya Uganda ne Congo egguddwaawo

Ensalo ya Uganda ne Congo egguddwaawo

Ali Mivule

June 29th, 2015

No comments

Uganda kyaddaaki etegereganye ne Congo okuggulawo ensala ye Vura emaze ssabbiiti nnya nga nzigale Mu Lukiiko olutudde mu kibuga Vura, enjuuyi zombie zitegereganye nti emirimu giddemu okutambula nga n’abantu abaali bakwata ebiso bajjiddwa ku nsalo poliisi n’eddamu okukuuma ekifo Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Fred […]

Temujja kuntiisatiisa- Mbabazi

Temujja kuntiisatiisa- Mbabazi

Ali Mivule

June 29th, 2015

No comments

  Kino kiddiridde poliisi okumulabula obutatawaana kwebuuza ku bantu kubanga aba NRM tebamumanyi Ng’ayogerako eri bannamawulire oluvanyuma lw’okudda ku butaka, Mbabazi agambye nti tajja kukkiriza kutiisibwatiisibwa nga wakugenda mu maaso n’enteekateeka ze Ono agambye nti ssemateeka amugamba emikono gya bantu 100 nga tannaba kwesimbawo okuva […]

Abavubuka ba Mbabazi bakwatiddwa- abamuvuganya beekalakasizza

Abavubuka ba Mbabazi bakwatiddwa- abamuvuganya beekalakasizza

Ali Mivule

June 29th, 2015

No comments

Poliisi ekutte abavubuka abawagira ba eyali ssabaminisita Amama Mbabazi amangu ddala nga bakamala okwogerako eri bannamawulire. Bano babakwatiddwa Kawempe ku country inn gyebabadde baayise bannamawulire. Bano bagenze okumaliriza okwogera nga poliisi yebulunguludde ekizimbe mwebabadde era nebayoolebwa nebakasukibwa ku kabangali esimbudde ku misinde gy’ekizungirizi Abamu ku […]