Amawulire

Amateeka ga palamenti gayisibwa mu butuufu

Amateeka ga palamenti gayisibwa mu butuufu

Ali Mivule

June 30th, 2015

No comments

File Photo: Ababaka ba palamenti

File Photo: Ababaka ba palamenti

Nampala wa gavumenti Ruth Nankabirwa awakanyizza ebigambibwa nti ensangi zino palamenti yegumbulidde omuze ogw’okuyisa amateeka ng’ababaka tebawera .

Bw’abadde ayogerako ne bannamawulire, Nankabirwa  agambye nti palamenti  eyogerwako y’eyisa amateeka omuli n’agagifuga , kale nga ate teyinza kukulemberemu muze gwakugamenya.

Nankabirwa agamba nti abantu basaana baawule wakati w’okuteesa n’okulonda,kubanga ebiseera ebisinga ababaka babeera batono mu kadde k’okuteesa , naye bwekuba kulonda, oba okuyisa etteeka, ababaka babeerawo, era nga bamala kuwera

Bino webigidde ng’ababaka  naddala abavuganya gavumenti bakalambidde nga palamenti bweyayisa etteeka erikwata ku by’obutujju ng’ababaka tebawera , era nga bateesa kuddukira mu kooti.

Mu ngeri yeemu tutegeezedwa nga olukiiko lwa ba minisita bw’ekkiriziddwa okuyisa etteeka erikkiriza gavumenti okukwatagana n’abantu ssekinoomu okukola pulojekiti ez’enjawulo.

Kino kyatuukiddwako mu kafubo k’ababaka ba NRM  kebabaddemu mu maka g’omukulembeze w’eggwanga Entebbe.

Omwogezi w’akabondo kano    Hamson Obua ,ategezezza nga bwebasazeewo kino nga basinziira ku ssemateeka w’eggwanga n’amateeka agafuga amawanga agali mu luse olumu ne Bungereza

Wabula Obua agamba baakwanja ensonga eno mu palamenti bannayuganda baweebwe omukisa oguteesa.