Amawulire

Kalangala ereebya mu siriimu

Kalangala ereebya mu siriimu

rmuyimba

June 30th, 2015

No comments

 

 

 

Disitulikiti ye Kalangala erangiliddwa nga ekitundu ekikyasinze okubeeramu obulwadde obwa mukenenya mu gwanga lyona olw’obungi bw’abantu abalina obulwadde abeyongera buli kadde.

Bino byogedwa minister avunanyizibwa ku by’obulamu omubeezi Sarah Opendi, bwabadde alambula amalwaliro awamu n’abantu baabadde bajanjabibwa mu Gombolola ye Bujumba.

OKusinziira mu biwandiiko ebiri mu kitongole ekya Kalangala Forum for people living with Hiv Aids Network abantu -15,000 bebamanyiddwa okuba nga beekebeza nebasangibwa nga balina obulwadde bwamukeneya songa omuwendo gw’abantu mu district yona guli ku emitwaalo etaano mu kenda .

Atwaala ekitongole Kino Henry Kizito, ategeezeza nga abantu 25% beebalina obulwadde obwa mukenenya songa abatanaba kweekebeza mu District yona bakyaali bangi nga batya okubategeeza nga bwebalina obulwadde buno.

Wano Minister Sarah Opendi Wasinzidde n’ategeeza nga abantu mukitundu kino bwebalina okukyuusa mu mizze gyaabwe omuli okumala gegaddanga ekiviiriddeko abantu bano okukwatibwa obulwadde buno.