Amawulire

Mbabazi asooke ateese ne NRM – kakiiko akalondesa

Mbabazi asooke ateese ne NRM – kakiiko akalondesa

Ali Mivule

June 24th, 2015

No comments

  Enteekateeka z’eyali ssabaminisita w’eggwanga  Amama Mbabazi okutandika okwebuuza ku balonzi nga yetegekera okwesimbawo ku bwa pulezidenti kuli mu lusuubo. Akakiiko k’ebyokulonda kamusabye enteekateekaye agikwasaganye n’eyekibiina kye nga tanatandika kutalaaga ggwanga okwebuuza. Ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda  Eng Badru Kiggundu agamba baafunye ebbaluwa okuva eri ssabawandiisi w’ekibiina […]

Abayizi be Makerere basasulwa

Abayizi be Makerere basasulwa

Ali Mivule

June 24th, 2015

No comments

    Ab’ettendekero ly’emakerere bakakasizza nga abayizi bonna ababanja ensimbi zabwe ez’okwegezaamu ezimanyiddwa nga Internship fees bwebagenda okuzifuna olwaleero nga terunaggwako. Wiiki ewedde ebikumin’ebikumi by’abayizi b’emakerere bekalakaasa lwakulwawo kubawa ssente zabwe. Omwogezi w’ettendekero lino  Ritah Namisango agamba basigazzaayo abayizi nga 100 bokka abalina obuzibu ku […]

KCCA yegaanye obutasasula basomesa

KCCA yegaanye obutasasula basomesa

Ali Mivule

June 24th, 2015

No comments

  Kampala Capital City Authority kyaddaaki evuddeyo ku byokulwawo okusasula omusaala gw’abasomesa n’etegeeza nga bbo bwebatalina buvunanayizibwa kusasula musaala gwonna wabula okwongera ku nsako y’abasomesa. Amyuka omwogezi wa KCCA  Robert Kalumba agamba emisaala gisasulibwa minisitule ekwatibwako. Kalumba agamba nti bbo aba KCCA buli nga 20 […]

DP etuula lwa kutaano ku nkayaana mu kibiina

DP etuula lwa kutaano ku nkayaana mu kibiina

Ali Mivule

June 24th, 2015

No comments

  Kino kiddiridde ekiwayi kyabamamemba abamu nga bakulembeddwamu omubaka wa Bukoto East Florence Namayanja okutiisa okuzira ttabamiruka w’ekibiina okugyako nga emivuyo mu kulonda kw’e masaka gitunuliddwamu. Ssabawandiisi w’ekibiina kino  Matthias Nsubuga agamba baagala kugonjoola nsonga eno nga ttabamiruka tanatuuka. Olunaku olweggulo waliwo ekibinja kyabanakiina abaalumbye […]

BMK yewozezzaako ku kibba ttaka

BMK yewozezzaako ku kibba ttaka

Ali Mivule

June 23rd, 2015

No comments

Omusuubuzi mu kibuga Bulayimu Muwanga Kibirige awakanyizza ebigambibwa nti yanyaga ettaka eryaali ery’essomero lya Buganda road primary school. Ng’alabiseeko mu kakiiko akanonyereza ku kibba ttaka mu kampala, BMK agambye nti ettaka eryogerwaako  ku kibanja namba 19 ku luguudo lwa Buganda road nga lijja okuva mu […]

Ebbugumu lyakatta 700 mu Pakistan

Ebbugumu lyakatta 700 mu Pakistan

Ali Mivule

June 23rd, 2015

No comments

Omuwendo gw’abantu abakaafa ebbugumu mu ggwanga lya Pakistan gutuuse ku 700. SSabaminisita wa Pakistan katia sabye amawanga gonna okusitukiramu babakwatizeeko kubanga embeera mu kitundu kye southern Sindh ebasusseeko Ekitongole ky’eggwanga lino ekikola ku bigwa bitalaze kitegeezezza nga bwekimaze okufuna ebiragiro bya katikkiro Nawaz Sharif okuddukirira […]

Egy’abatujju tegigenze mu maaso

Egy’abatujju tegigenze mu maaso

Ali Mivule

June 23rd, 2015

No comments

Okuwulira emisango egivunaanibwa abagambibwa okutega bbomu mu mwaka 2010 kugudde butaka nga kwakuddamu olunaku lw’enkya Kiddiridde ab’oludda oluwaabi okulemererwa okuleeta omujulizi gwebabadde basuubira Munnamateeka wa gavumenti omukulu Susan Okalany ategeezezza omulamuzi agubadde mu mitambo Alfonse Owiny Dollo nti omulamuzi w’eddaala erisooka owa kkooti ya Buganda […]

Ebya TV za digito bituuse mu palamenti

Ebya TV za digito bituuse mu palamenti

Ali Mivule

June 23rd, 2015

No comments

Ensonga y’okujjako TV ezitali za digito ku mpewo etuuse mu Lukiiko olukulu olw’eggwanga Ensonga eno ereeteddwa omubaka wa kawempe mu bukiikakkono Latif Ssebaggala agambye nti afunye okwemulugunya okuva eri abantu be nti tebakyalaba bigenda mu maaso mu ggwanga. Omubaka ono agambye nti era abantu abamu […]

Aba USAFi bakaaba lwakukwata bakulembeze baabwe

Aba USAFi bakaaba lwakukwata bakulembeze baabwe

Ali Mivule

June 23rd, 2015

No comments

Abasubuuzi b’omu katale ka Usafi abeegattiira mu kibiina kyabwe ekya Usafi Vendors association bavumiridde ekikolwa kye Kitongole kya KCCA ky’okusiba abakulembeze baabwe ku nsonga zebayise ezekijweteke. Banno nga bakulembeddwamu ow’ebyokwerinda mu Katale kano Sulaiman Male balumirizza abakozi ba KCCA okuleeta bu Kiosk mu Katale kyokka […]

Abaayira omusuubuzi asidi bakkirizza- bba yeeyatutuma

Abaayira omusuubuzi asidi bakkirizza- bba yeeyatutuma

Ali Mivule

June 23rd, 2015

No comments

Abasajja abaayira omusuubuzi asidi n’afa bakkirizza emisango era nebasalirwa emyaka 25 mu kkomera. Ivan Namanya ne Farouq Walusimbi bakkirizza nga bwebatta Josephine Namanda  bwebabadde mu maaso g’omulamuzi Elizabeth Nahamya. Ababiri bano wabula bagambye nti baatumwa bba w’omugenzi Kassim Kakaire yadde nga yye omulamuzi bw’amubuuzizza emisango […]