Amawulire

BMK yewozezzaako ku kibba ttaka

BMK yewozezzaako ku kibba ttaka

Ali Mivule

June 23rd, 2015

No comments

File Photo : Omugagga Bmk

File Photo : Omugagga Bmk

Omusuubuzi mu kibuga Bulayimu Muwanga Kibirige awakanyizza ebigambibwa nti yanyaga ettaka eryaali ery’essomero lya Buganda road primary school.

Ng’alabiseeko mu kakiiko akanonyereza ku kibba ttaka mu kampala, BMK agambye nti ettaka eryogerwaako  ku kibanja namba 19 ku luguudo lwa Buganda road nga lijja okuva mu Kampala district land board kyokka nebamuwaamu ettaka eddala erisangibwa ku kibanga namba 27.

Ategeezezza akakiiko nti yasasula obukadde 110 eri ekitongole kino era minisitule y’ebyenjigiriza n’ekkiriza

Ono wabula agambye nti kimunyiiza okulaba nti yawaayo ssente ze kyokka nga tebamukkiriza kukulakulanya ttaka lye n’asaba palamenti emuyambeko