Olwali

Asaze amasanvu n’awangula empaka

Ali Mivule

July 30th, 2013

No comments

Omukyala eyali yagejja yenna ng’awedde ku mpagala awulidde empaka z’obwannalulungi n’atabukira gymn okukakkana ng’aziwangudde Omukyala ono ow’emyaka 31 asoose kwesonyiwa bisiike olwo n’ayingira abavuganya era yayingiddewo bulungi mu kagoye akawungirwaamu enduulu n’eraya Yatandika okwekozza mu mwaka gwa 2011 nga takyamala galya era nga abadde alya […]

Eddugu lilina swagga

Ali Mivule

July 29th, 2013

No comments

Abantu abalina amasaali bangi naye obadde okimanyi nti n’ebisolo tebinyigirwa mu ttooke Mu ggwanga lya Ireland, Eddubu liyingidde mu baala nerisaba eky’okunywa Eddubu lino wabula ekyewunyisizza ababaddewo teririnze muwereeza kuleeta kyakunywa neryekandagga nerifuluma Ekirungi nti ba customer abasinga babadde mu kisenge kya bbaala ekirala era […]

Munnamawulire akikoze

Ali Mivule

July 26th, 2013

No comments

Munnamawulire  abadde anyonyola banne nga bwawandiika saako n’okukuba obufananyi nga anyonyola, yeekanze akubye ekifananyi ky’obusajja mu butanwa.   Ono awulidde banne kuseka nga tamanyi kigenda maaso .   Agenze okwekanga nga mu bufananyi obwedda bwakuba mulimu akafanana obusajja bwe.

Abbye omufu

Ali Mivule

July 24th, 2013

No comments

Ono bukyanga bamutenda okubba abbyeemu bino. Omusajja ono ayeeyita Billy ebbye evvu ly’omufu Muliranwa yeeyafiirwa nyina nebamwokya ne evvu n’alitereka ng’abadde alitunulako okujjukira nyina. Omusajja ono b’wabuuziddwa wa gy’abadde atwala omufu n’ategeeza nga bw’abadde agyiyita enjaga y’obuwunga  

Iryn Namubiru mu kooti

Ali Mivule

July 24th, 2013

No comments

Okunonyereza ku musango ogwawaabwa omuyimbi Irene Namubiru kukyagenda mu maaso. Ono yawaaba munnabyabusuubuzi era nga yeeyali manager we Kim Tumwesigye ng’amulanga kumutikka njaga mu bugenderevu Kigambibw anti wakati w’enaku z’omwezi 1 ne 5 mu mwezi gw’okutaano mu mwka aguno, Kim ono yamusaba okumutwalira ku case […]

Kasiru ayogedde

Ali Mivule

July 23rd, 2013

No comments

Omwana omuwala ow’emyaka esatu eyagaana okwogera nga bulijjo kasiru ayogedde ekigambo ekisoose mu bulamu bwe. Manyi bangi bebuuza atya naye ng’ekyewunyisa nti omwana ono ekimwogezza bya kulya Omwana ono babadde bamuwa olububi lw’amata muyite cheese okumala akabanga era babadde awo n’avaamu ekigambo Abasawo baali bamwekebejja […]

Ani asinga obusajja obutono

Ali Mivule

July 23rd, 2013

No comments

Buno bwebutaba bugwenyufu, kirala. Mu ggwanga ly’Amerika mu kibuga  New york, abaayo bategese empaka z’omusajja asinga obusajja obutono. Nick Gilronan yeyawangudde empaka zino olwo ebifananyi nebiruma. Empaka zino zibadde mu bbaala emu ey’abazinyi b’ekimansulo era nga omu kwomu obwedda y’avaayo okulaga kyalinawo. Omuwanguzi abuusewo ne […]

Christmas etandise

Ali Mivule

July 22nd, 2013

No comments

Abantu abaeesunga ennaku nkulu bangi naye bano basusse Mu ggwanga lya America, abeesunga Christmas batandise nga waliwo edduuka eddene elitandikiddwa Edduuka lino litunda ebintu ebitali bimu omuli baluuni, ebimuli ,obuti bwa Christmas ne kalenda z’omwaka ogujja Omu ku bakoze edduuka lino Rev Roger Bush agamba […]

Obulango ku bisambi

Ali Mivule

July 22nd, 2013

No comments

Abasajja mu ggwanga lya Japan bakutunuulira ebisambi by’abakyala awatali kwebbiririra. Kampuni ekola ogw’okulanga ebintu etandise okulangira ku bisambi by’abakyala. Kampuni eno epangisizza abakyala abanyikira amata nebabakuba obulago ku bisambi nga bano bayita mu kibuga wakati abasajja nebafa amababbanyi Abawala bano balina kubeera nga basussa emyaka […]

Abakukusa enfudu

Ali Mivule

July 22nd, 2013

No comments

Police y’oku kisaawe ky’enyonyi mu ggwanga lya Buyindi ekutte abantu babiri ababadde bakukusa enfudu. Mu migugu gyaabwe musangiddwamu obufudu obuto lukumi. Police yewunyizza engeri bano gyebasobodde okupakira obufudu buno okuja mu bitereke bye babadde nabyo.