Amawulire
Amalwaliro agamu gawedde
Minisitule ekola ku byobulamu emalirizza okuddabiriza amawaliro musanvu. Ekigendererwa ku kino kutereeza mpereeza naddala mu byobulamu Amalwaliro agakoleddwaako kuliko erye Moroto Anaka , Nakaseke. Entebbe, Iganga, Kirandongo ne Mityana. Enteekateeka etutte obukadde bwa doola 130 okuva mu banka y’ensi yonna. Omuwandiisi w’enkalakkalira mu minisitule y’ebyobulamu […]
Enkuba ekosezza abayizi-ebgezo bikereeye
Ng’abayizi abasinga bakedde kukola bigezo, e Soroti ku ssomero lya Pioneer Primary School abayizi bakedde kugogola kifo webakoledde ebigezo Ekizimbe abayizi mwebabadde balina okukolera ebigezo kikubyeeko amazzi olw’enkuba eyasuze etonnya. Akulira essomero lino John Evans Omuut Otim, agambye nti ebizimbe ebisinga bikadde nnyo nga bitonnya […]
Omwana asse munne
Poliisi e Kiwatule aliko omuwala ow’emyaka 14 afumise mwana munne akaso n’amutta. Gw’asse wa myaka 4 Omwana ono Gudaike Nanse abadde akalakata byanyanja , omuto n’ajja okumutawaanya era mu busungu n’amusogga akaso n’afa. Bino bibadde mu zooni ya Wabidugu e Kiwaatule Omwogezi wa poliisi mu […]
Sebaggala alebukaana na bamubbako kibiina
Eyesimbyeewo ku bukulembeze bw’eggwanga Al- Hajji Nasser Ntege Sebaggala addukidde mu kkooti ku ky’ekibinja ekigamba nti kyekyatandikawo ekibiina kye ekya Liberal Democratic Transparency Sebaggala amaze okutwala ensonga eno mu kkooti enkulu ng’ayagala kiragiro ekiyimiriza Zaid Mukasa okweyisa nga ssabawandiisi w’ekibiina okutuuka ng’omusango gwonna guwuliddwa. Sebaggala […]
Anywar owa FDC agenda wa Mbabazi
Munna FDC era nga mubaka omukyala owe Kitgum Beatrice Anywar ategeezezza ng’olunaku lw’enkya bw’ajja okuwerekera Mbabazi mu kumuwandiisa okulaga obuwagizi bwe gy’ali. Anywar agambye nti ab’omukago gwa TDA bagaana okutegeragana nebalekawo abantu babiri okuli Mbabazi ne D.r Kiiza Besigye era nga bonna bakubawagira Anywar agambye […]
Ebyobufuzi ssi mulimu- Museveni
Pulezidenti Museveni agamba nti ekisinze okukosa empereeza eri abantu beebakulembeze abatalina mutima gwa bantu. Ng’ayogerako eri bannakibiina mu kuggalawo ttabamiruka, pulezidenti agambye nti obukulembeze bulina kutambulira ku mpereeza era oyo yenna alina ky’ayagala alina kukulembeza bantu Museveni agambye nti ekyennaku kiri nti abantu ebyobufuzi babiraba […]
Ssabawaabi yegaanye emisango ku Mbabazi- Poliisi eyogedde
Ofiisi ya ssabawaabi wa gavumenti ekyali matankane ku by’okukwata eyali ssabaminista Amama Mbabazi. Kiddiridde bannamateeka ba Mbabazi okutegeeza nga bwebafunye amawulire nti omuntu waabwe wakukwatibwa assibweeko emisango gyebayise emijingirire. Munnamateeka wa Mbabazi Fred Muwema agambye nti Mbabazi wakussibwaako misango gyakukettera amawanga amalala, obutemu n’obufere. Kati […]
Mbabazi wakukwatibwa- bannamateeka be
Bannamateeka ba Amama Mbabazi bawandiikidde sabawaabi wa gavumenti nga bamubuuza ku bigambibwa nti omuntu waabwe wakukwatibwa. Kigambibwa nti Mbabazi wakuvunanibwa emisango okuli obutemu, obufere n’okuketta gavumenti yakuno. Bannamateeka ba Mbabazi bategezezza nga omutu wabwe bw’asubirwa okukwatibwa olunaku lw’enkya oba olwaleero Nga bakulembeddwamu Fred Muwema bategezezza […]
Mbabazi afunye omubaka asoose owa NRM
Omubaka we Kween Chamaswet Abdil Fadhil Kosi alangiridde mu butongole nga bw’agenda okuwagira naye Mbabazi. Ono ye Mubaka wa NRM asoose okulangirira obuwagizi bwe eri Mbabazi Chamaswet nga munna NRM lukulwe y’omu ku bantu 20 abalondeddwa okuwerekera Mbaabzi mu kusunsulibwa mu kisaawe e Namboole olunaku […]
Abayisiraamu ba Mbabazi
Ekibinja ky’abayisiramu ekya Youths Development Platform kirangiridde nga bwekigenda okuwagira eyali ssabaminisita Amama Mbabazi ku bwa pulezidenti. Ekibinja kino kigamba gavumenti eriko tefudde ku bizibu biluma basiraamu mu ggwanga kale kabagezeeko Mbabazi. Akulira ekibiina kino Ahmed Kabuye agamba benyamivu olwagavumenti obutalondebwa mu bifo byamaanyi kale […]