Amawulire

Palamenti enatuula ku by’ensimbi

Ali Mivule

November 6th, 2015

No comments

Palamenti eyitiddwa bukubirire okuyisa etteeka eriwa gavumenti ebbeetu okusasaanya ensimbi nga tafunye lukusa okuva eri palamenti. Okusinziira kw’akulira ebyamawulire ku palamenti Chris Obore, palamenti yakutuuka ku lw’okubiri oluggya ku ssaawa munaana zenyini. Obore agambye nti ofiisi y’omuwandiisi wa palamenti emaze okufulumya ebbaluwa eyita ababaka bonna […]

Kiggundu alabudde bannabyabufuzi

Ali Mivule

November 6th, 2015

No comments

Ssentebe w’akakiiko akalondesa Eng Badru Kiggundu alabudde bannabyabufuzi ku kumal agamokkola gagambo agayinza okuzaala entalo. Kiggundu bino ebyogedde ayogerera ku kukubaganya ebirowoozo okutegekeddwa aba ACODE ku ngeri y’okukumaamu emirembe mu biseera by’okulonda Kiggundu agambye nti akitegedddeko nti waliwo bannabyabufuzi abakunga abawagizi baabwe okukola effujjo mu […]

Sisinkana omusajja asalako abakyala ebitundu by’ekyama

Sisinkana omusajja asalako abakyala ebitundu by’ekyama

Ali Mivule

November 5th, 2015

No comments

Waliwo omusajja asangiddwa n’ebitundu by’abakyala ebyekyama 21 mu firiigi ye. Peter Frederiksen, w’emyaka 63 nga munnansi wa Denmark kyokka ng’;abeera mu South Africa nakati tekinnategerekeka lwaki akungaanya ebitundu bino. Omusajja ono era yasangibw an’edagala nga kirabika alikuba abakyala nga tennaba kubasalako bitundu bya kyama Mukyala […]

Mu South Sudan, bawawula byakulwanyisa

Mu South Sudan, bawawula byakulwanyisa

Ali Mivule

November 5th, 2015

No comments

Mu ggwanga lya South Sudan kizuuliddwa nti gavumenti n’abayekeera bonna bali mu kukungaanya byakulwanyisa kuddamu kulwana yadde nga bategeragana okussa wansi emmundu Akakiiko k’ekibiina ky’amawanga amagatte akakola ku by’okwerinda keekategeezezza bino mu alipoota yaako gyekakoze. Yadde nga guno bweguli , ab’omukago bagaanye okussa natti ku […]

Teri kumenya katale ke Nakasero- kkooti

Teri kumenya katale ke Nakasero- kkooti

Ali Mivule

November 5th, 2015

No comments

Kkooti enkulu mu Kampala eyongezezzaayo  ekiragiro ekikugira okumenya akatale ke Nakasero, era n’eragira akatale kano obutamenyebwa okutuusa nga 16 November  2015. Ekiragiro kino ekiyisiddwa  omuwandiisi wa kkooti  Michael Otto era kigaana ne gavumenti okuwa ekiwayi  kya Nakasero Market Sitting Vendors and Traders LTD ekikulembeerwa George […]

Omufumbo aleseewo omukyala n’adda ku mbuzi

Omufumbo aleseewo omukyala n’adda ku mbuzi

Ali Mivule

November 5th, 2015

No comments

Poliisi mu disitulikiti ye Nebbi ekutte omufumbo w’emyaka 56 lwakwekakatiika ku mbuzi ya neyiba Omusajja ono akwatiddwa ye Charles Onen omutuuze mu Gombolola ye Kwiyucwiny mu disitulikiti ye Nebbi. Ayogerera poliisi mu bitundu bya WestNile Josephine Angucia agambye nti omusajja ono bwebamukunyizza teyegaanye era n’agattako […]

KKooti etabukidde Katongole singh

KKooti etabukidde Katongole singh

Ali Mivule

November 5th, 2015

No comments

Kkooti enkulu eyisizza ekiragiro ekiyimiriza aba NRM okuwandiisa Katongole singh ng’akutte bendera ya NRM e Rubaga mu bukiikakkono Amyuka omuwandiisi wa kkooti enkulu Festo Nsenga y’ayisizza ekiragiro oluvanyuma lwa gweyawangula  Brian Tindyebwa okumulumiriza okumubba mu kamyufu ate nga n’ebiwandiiko by’alina bikyaamu. Tindyebwa nga munnamateeka agamba […]

Mbabazi ne Museveni basoose mu Buganda

Mbabazi ne Museveni basoose mu Buganda

Ali Mivule

November 5th, 2015

No comments

Pulezidenti Museveni  n’eyali ssabaminista Amama Mbabazi bakutandikira kampeyini zaabwe mu bitundu bya Buganda Museveni wakutandikira Luweero are nga yye Mbabazi agenze Masaka. Mbabazi bw’ava eno wakudda Mityana n’oluvanyuma adde mu Kampala. Okusinziira ku nteekateeka ewereddwa akakiiko akalondesa, Dr Kiiza Besigye wakusookera Mbale Bonna byebasazeewo bakubiwa […]

Ssekikubo akaaba Kuteesa

Ali Mivule

November 5th, 2015

No comments

Omubaka we Lwemiyaga mu palamenti Theodore SSekikubo azzeemu buto okulumba minisita Sam Kuteesa lwakulangirira ebikyaamu mu kamyufu Ssekikubo agamba nti yadde yeeyawangula, kyamuweddemu Kuteesa okulangirira eyali amwesimbyeeko Patrick Nkalubo. Ssekikubo agambye nti Kuteesa atandise okuyita mu bitundu ebitali bimu ng’amusiiga enziro n’okusaba abantu balonde Nkalubo […]

Abaawangulwa mu kamyufu beekozeemu akabondo

Ali Mivule

November 5th, 2015

No comments

Abaawangulwa mu kamyufu ka NRM beekozeemu omulimu nga kati beetaga kusisinkana omukulembeze w’eggwanga. Bano bakulembeddwaamu omubaka Peter Eriaku nga ye mubaka w’essaza lye Kaperebyong. Abeekozeemu ekibinja kuliko omubaka omukyala owe Mityana Sylivia Namabidde, Lilly Adong,Steven Mugabi Bakar, Sarah Mateke,Julian Modesta Auma,Flavia Kabahenda,James Mbahimba ne Nelson […]