Amawulire

Ebbago ku bwaladde lijja

Ivan Ssenabulya

January 10th, 2018

No comments

Palamenti olwaleero esindise omubaka we Busiki Paul Akamba mu luwummula, okubaga etteeka erikwata ku ddembe lyabalwadde lyeyatuumye ‘Patient’s Rights and Responsibilities Bill erya 2018 Okusinziira ku Akamba, mu kiseera kino tewaliiwo tteeka erifuga nokutataira eddembe lyabalwadde. Omumyuka womukubiriza wolukiiko lwe gwanga olukulu Jacob Oulanya amuwadde […]

Bebasanze nga bakola omukwano ku kubo baguddwako omusango

Ivan Ssenabulya

January 10th, 2018

No comments

Bya Shamim Nateebwa Poliisi ye Makindye mu Kizungu ekutte abaagalana abagambibwa okusindira omukwano mu mmotoka emisana ttuku, n’ebaggulako omusango gw’okweyisa ngebimpeneggu. Mathias Nkonwa owemyaka 28 nga mutuuze w’e Ndejje Namasuba ne Dianah Naggawa owa 26, omutuuze w’e Luwafu bebakwatiddwa nebaggalirwa ku poliisi y’omu Kizungu. Bano […]

Gavumenti ekambuwadde ku bategekea ensisira ze’byobulamu

Ivan Ssenabulya

January 10th, 2018

No comments

Bya Ndaye Moses Gavumenti etadewo amateeka amakakali agagenda okugobererwa bona abategeka ensisira zebyobulamu mu gwanga. Kino kidiridde amawulire okusasana nti waliwo abategeka ensisira nzebyobulamu wabula nebakozesa abantu abatali batendeke kimala, okukakana ngabalwadde bebakolako beyongedde kufuna bizibu. Minister omubeezi oweby’obulamu Sarah Opendi agambye nti amateeka gawedde […]

Abasomesa nabakozi mu Matendekero aga waggulu bakwediima

Ivan Ssenabulya

January 10th, 2018

No comments

Bya Damalie Mukhaye Abasomesa nabayambi baabwe mu matendekero ga gavumenti aga waggulu, basizza kimu okwediima ssinga ensimbi zaabwe ezennyongereza tezirabikire mu mbalirira ye gwanga. Abamu ku bakulira abakozi bano bazlumbye ministry yebyenjigiriza nemizannyo nga bagala okunyonyolwa lwaki ensimbi zaabwe obuwumbi 196 teziri mu kiwandiiko ekikwata […]

Eyasobya ku kateyamba asindikiddwa mu Kkomera

Ivan Ssenabulya

January 10th, 2018

No comments

Bya Ruth Anderah Agavudde mu kooti, omuvubuka owemyaka 20 akaligiddwa nasindikibwa e Luzira, lwa kwegadanga na mwana owemyaka 15 eyalina obulemu ku bwongo. Reagan Kibuuka yalabiseeko mu maaso gomulamuzi we ddaala erisooka ku City Hall Patrick Talisuna, kyoka namugaana okubaako kyayogera kubanga  omusango gwe gwa […]

Abakozi ba yunivasite balumbye minisitule.

Ivan Ssenabulya

January 10th, 2018

No comments

Bya Damali Mukhaye. Abakulembeze b’abakozi abatali basomesa mu matendekero ga gavumenti agaawagulu balumbye ekitebe kya minisitule ekola ku by’enjigiriza amakya ga leero , nga ekibalese nsonga za misaala. Bano nga bakulembedwamu ssentebe waabwe Jackson Betiham, bagamba nti ekibaleese kumanya nsonga lwali enyongeza ku musaala gwabwe […]

Omuserikale Aron Baguma agiddwako emisango gy’obutemu.

Ivan Ssenabulya

January 10th, 2018

No comments

Bya Ruth Anderah. Agava mu  kooti  enkulu ebadde ewulira omusango gw’obutemu oguvunanibwa  omuserikale Aron Baguma,  Muhammad ssebuufu, n’abalala 8 , galaga nga omuwaabi wa government bwakyasanguzza nti eby’okuvunaana Baguma aby’esonyiye. Ebalwawu ejjayo omusango guno yawandikibwa nga 21st  december 2017 ,era nga eriko omukono gwa ssabawaabi […]

Olukalala lw’abaana abagenda okutikirwa e Makerere lufulumye.

Ivan Ssenabulya

January 10th, 2018

No comments

Bya Damali Mukhaye. E Makerere tutegeezedwa nga olukalala lw’abaana 13,000 bwerufulumye nga bano bebagenda okutikirwa ku matikira gano ag’omulundi ogwe 68th sabiiti egya Twogedeko n’akola ku by’ensoma e Makerere Alfred Masikye, n’agamba nti abaana  407 bebayitidde mu daala erisooka – first class degree Amatikira gano […]

Omwami wa Minisita Amelia Kyambadde bamuyimbudde

Ivan Ssenabulya

January 9th, 2018

No comments

Bya Ruth Anderah Omwami wa minister webyobusubuzi namakolero saako obwegassi Amelia Kyambadde ayimbuddwa okuva mu kkomera e Luzira gyabadde ku kiboberezo kya myezi . Okusinziira ku mwogezi wamakomera, Wilson Kyambadde ayimbuddwa okuva mu kkomera olwaleero. Kyambadde nga July 10, 2017 omumyuka womuwandiisi wa kooti Flavia […]

Minista wakunyonyola ku musujja oguli e Nakaseke

Ivan Ssenabulya

January 9th, 2018

No comments

Bya Kyeyune Moses Minister owa guno na guli mu ministry yebyobulamu Sarah Opendi asubizza nti wakuvaayo nekiwandiiko ekijjudde ku bigambibwa nti waliwo okubalukawo kwerirwadde kyomusujja gwa Congo Crimean Fever mu distrct ye Nakaseke. Opendi abadde ayanukula ku kwemulugunya okwanjuddwa omubaka wa Nakaseke South, Luttamaguzi Semakula […]