Amawulire

Abasomesa nabakozi mu Matendekero aga waggulu bakwediima

Ivan Ssenabulya

January 10th, 2018

No comments

Bya Damalie Mukhaye

Abasomesa nabayambi baabwe mu matendekero ga gavumenti aga waggulu, basizza kimu okwediima ssinga ensimbi zaabwe ezennyongereza tezirabikire mu mbalirira ye gwanga.

Abamu ku bakulira abakozi bano bazlumbye ministry yebyenjigiriza nemizannyo nga bagala okunyonyolwa lwaki ensimbi zaabwe obuwumbi 196 teziri mu kiwandiiko ekikwata ku mbalirira yomwaka gwebuyensimbi ogujja.

Wabula bano basindikiddwa ku ministry yebyensimbi, bebayinza okubanyonyola ku nsonga zaabwe.

Ssentebbe owekibiina ekigatta abasomesa nabatali basomesa ku matendekero ga gavumenti Jackson Betihama abasabye bamatize ministry yebyenjigiriza okutekamu ensimbi zino mu mbalirira.

Wabaula agamba nti embalirira enasomwa mu July womwaka guno nga temuli nsimbi zaabwe, zakudda okunywa.