Amawulire

Bebasanze nga bakola omukwano ku kubo baguddwako omusango

Ivan Ssenabulya

January 10th, 2018

No comments

Bya Shamim Nateebwa

Poliisi ye Makindye mu Kizungu ekutte abaagalana abagambibwa okusindira omukwano mu mmotoka emisana ttuku, n’ebaggulako omusango gw’okweyisa ngebimpeneggu.

Mathias Nkonwa owemyaka 28 nga mutuuze w’e Ndejje Namasuba ne Dianah Naggawa owa 26, omutuuze w’e Luwafu bebakwatiddwa nebaggalirwa ku poliisi y’omu Kizungu.

Bano okukwatibwa kiddiridde abasirikale abaabadde  balawuna ekitundu okwekengera mmotoka ekika kya Prado TX nnamba UAT 288/G eyabadde ku mabbali g’oluguudo nga y’esuukunda ekyabawalirizza okugisemberera, nebazuula nti bano babadde beesa mpiki za mukwano.

Akulira poliisi y’omu Kizungu, Sharif Kibike eyakulembeddemu banne ategezeezza nti bano baasoose kugaana kuggulawo mmotoka kyokka oluvannyuma baapondose nebaggulawo, nga bali mu buswavu obwekitalo.

Kati baguddwako omusango gwakwefuula ekitagasa.