Amawulire

Abakozi ba yunivasite balumbye minisitule.

Ivan Ssenabulya

January 10th, 2018

No comments

Bya Damali Mukhaye.

Abakulembeze b’abakozi abatali basomesa mu matendekero ga gavumenti agaawagulu balumbye ekitebe kya minisitule ekola ku by’enjigiriza amakya ga leero , nga ekibalese nsonga za misaala.

Bano nga bakulembedwamu ssentebe waabwe Jackson Betiham, bagamba nti ekibaleese kumanya nsonga lwali enyongeza ku musaala gwabwe nakakano tenateekebwa mu mbalirira y’omwaka  ogujja etali ya nkomeredde[Budget frame work papaer].

Kati bano wetwogerera beevumbye akafubo n’omuwandiisi ow’enkalakalira mu ministry eno Alex Kakooza abeeko by’abagamba.