Amawulire

Ebya S.6 bifulumye- abayizi bakoze bulungi- ebigezo 34 bikwatiddwa

Ali Mivule

March 27th, 2014

No comments

Ebigezo bya siniya y’omukaaga bifulumiziddwa Abayizi ku luno baakoze bulungi okusinga luli.Abayizi ebitundu 97 ku kikumi baayise ebigezo Amasomo ga History ,Economics, Entreprenuership, ne CRE geegasinze okukolebwa obulungi. Abagezo by’abayizi 34 bikwatiddwa Abayizi 289,012 beebatuula ebigezo bino okwawawukanako n’abayizi emitwaalo 262,987 mu mwaka gwa 2012. […]

Omubaka Brenda Nabukenya agobeddwa mu palamenti

Ali Mivule

March 27th, 2014

No comments

Omubaka omukyala owe Luwero Brenda Nabukenya agobeddwa mu palamenti Kiddiridde kooti ejulirwaamu okukkiriziganya ne kkooti enkulu nti okulonda okwamutuusa mu palamenti tekwaali kwa mazima na bwenkanya. Abalamuzi abasatu abakooti ejulirwaamu nga bakulembeddwamu Stephen Kavuma beebasomye ensalawo ya kooti Bano bagmbye nti enjawulo y’obululu 30 Nabukenya […]

Abazadde basobola okusala amasavu

Ali Mivule

March 26th, 2014

No comments

Abasawo mu ggwanga lya Canada bagamba nti abakyala nga bamaze okuzaala batandika okukogga ng’abaana bawezezza emyezi esatu era nga kino kikoma ku mwaka gumu Abakyala abalemererwa okukoggera mu bbanga lino  oba abamu nebagejja baba bassa obulamu bwaabwe mu matigga Abakyala bano batera okufuna puleesa ate […]

Baweze okulya obuwundo

Ali Mivule

March 26th, 2014

No comments

Eggwanga lya Guinea liweze ey’okulya obuwundo mu kawefube w’okulwanyisa obulwadde bwa Ebola. Mu ggwanga lya Guinea obuwundo yakulya kya ttunzi kyokka nga kyakakasiddwa nti bwebavuddeko ekirwadde kya Ebola Abantu 62 beebakafa obulwadde buno obulabiddwaako ne mu ggwanga lya Liberia ne Sierra Leone. Obulwadde bwa Ebola […]

Lwaki musalako Mulago amazzi-babaka

Ali Mivule

March 26th, 2014

No comments

Abali mu mulimi gw’okulwanirira ebyobulamu ebirungi eri bannayuganda bakwemulugunya mu palamenti nga bagaala eyingira mu mbeera mu ddwaliro ekkulu e Mulago Ssabbiiti ewedde, eddwaliro lino lyasalwaako amazzi olw’ebbanja kya buwumbi 6 Bannakyeewa bano nga bayita mu kibiina kyaabwe ekya Voices for health bagamba nti embeera […]

Ebbago ku Mukenenya-obuwaayiro obumu busuuliddwa

Ali Mivule

March 26th, 2014

No comments

Ababaka ba palamenti abatuula ku kakiiko akakola ku nsonga za mukenenya bakkiriziganyizza okusazaaamu akawayiiro mu bbago ly’etteeka ku mukenenya akakifuula eky’obuwaze abasawo okwatuula abantu abalina obulwadde bwa mukenenya Akawayiiro namba 23 mu bbago lino kabadde kawa dokita olukusa okwatuula omuntu gwebakebedde n’aasangibwa n’akawuka ka mukenenya […]

Fooko emulakidde

Ali Mivule

March 26th, 2014

No comments

Abantu abawakanira ebintu ebitali bimu tebaggwa Ono wa nzaalwa ya Romania ng’asibye ensimbi nti asobola okumira fooko ekozesebwa okulya emmere. Radu ow’emyaka 25, addusiddwa mu ddwaliro nga biwala ttaka oluvanyuma lwa fooko okumwekiika n’atandika okwenyoola. Abasawo abalese banyeenya mitwe oluvanyuma lw’okumwekebejja nebalaba fooko ng’eremedde mu […]

Tiimu y’okubaka egenda Botswana

Ali Mivule

March 26th, 2014

No comments

  Team yabato eyomuzannyo gwokubaka yakugenda e Botswana mumpaka ezokusunsulamu abanetaba muza Commoen wealth games omwaka guno. Kino kidiridde akafubo akabaddemu minister webyemizanyo Hon Charles Bakabulindi wamu nabakungu ba Uganda Olympics committee olunaku lweggulo. Team eno yali yawandukululwa kulukalala lwemizanyo egitwalibwa e Botswana mumwezi gwokutaano […]

aba somali mu nkambi

Ali Mivule

March 26th, 2014

No comments

Eggwanga lya Kenya lyongedde okutabukira abatujju Abasomaali bonna abali mu bibuga balagiddwa okugenda mu nkambi ezissiddwaawo mu kawefube w’okwewala ennumba z’ekika kyonna Minista wa Kenya akola ku nsonga z’omunda mu gwanga Ole Lenku agambye nti obulumbaganyi ku Kenya bususse ate ng’ababukola bava Somalia Bbo abamu […]

Ekizimbe kimugwiridde

Ali Mivule

March 26th, 2014

No comments

Ekizimbe  ekibadde kimenyebwa e Nakasero okumpi n’omuzikiti kigwiiridde omusajja n’amenyeka mu kifuba Abu Lubega y’addusiddwa mu dwaliro ekkulu e mulago nga afa obulumi. Agamba nti abadde ne banne nga bamenya kwekulaba nga amabulooka gayiika era mu kugezaako okwetegula , amataffaali negamukuba mu kifuba