Amawulire

abavuganya batabukidde poliisi- Ezizza omuliro

Ali Mivule

March 31st, 2014

No comments

Poliisi esabiddwa okukoma okwekwaasa etteeka erifuga enkungaana kubanga terissibwanga mu nkola Abavuganya nga bakulembeddwaamu owa DP Nobert Mao bagamba nti bakikakasizza nti minisita akola ku nsonga z’omunda mu ggwanga Gen Aronda Nyakairima tassa nga mu nkola tteeka lino. Mao agamba nti tewaliiwo tteeka likugira nkungaana […]

Omwenge guleeta kokoolo

Ali Mivule

March 31st, 2014

No comments

Obadde okimanyi nti omwenge ogwo gw’onywa buli kawungeezi gusobola okukuleetera kokoolo w’omukamwa Dr. Edward Mukasa agamba nti bakizudde nti ekisinga okuleeta kokoolo ye kokoolo w’omu kamwa gwe mwenge era ng’abantu bandibadde bagwewala Dr Mukasa agamba nti omwenge guno ate bwegugattibwaamu sigala gujabagira

Abaswo b’amannyo ab’ebicupuli bakwatibwe

Ali Mivule

March 31st, 2014

No comments

Minisitule ekola ku byobulamu mu ggwanga eragidde abatwala ebyobulamu mu disitulikiti zonna okukola ebikwekweto ebikwata abasawo b’amannyo bonna eb’ebicupuli. Minister omubeezi ow’ebyobulamu Dr Ellioda Tumwesigye agamba nti abantu abakuula amannyo abasinga tebalina bumanyirivu Ellioda agamba      

Kkooti ezzeemu okugoba Lukwago mu ofiisi

Ali Mivule

March 31st, 2014

No comments

Ebya loodi meeya Erias Lukwago bikyali bibi,nga tanabugumya na ntebe ye ey’obwaloodi meeya gyazzemu okutulamu olunaku olwaleero, nate  azzemu nagobwa mu ofiisi. Kino kiddiridde kooti ejulirwamu okusazaamu byonna abyasaliddwawo omulamuzi wa kooti enkulu Lydia Mugambe eby’okuzza Lukwago mu ofiisi oluvanyuma lwa ssabawolereza wa gavumenti Peter […]

Sijja kuwolera ggwanga-Lukwago

Ali Mivule

March 31st, 2014

No comments

  Loodi meeya wa kampala Erias Lukwago aweze obutawolera ggwanga eri abo  bonna abamutwalaganya okwagala okumusuuza entebe y’obwa loodi meeya. Lukwago mu ssanyu eryekitalo era yeebazizza banakampala bonna abayimiridde naye mu kawefube w’okudda mu ofiisi ye. ono era agamba mwetegefu okukolagana n’omuntu yenna atwala ekibuga […]

Lukwago azze mu ofiisi

Ali Mivule

March 31st, 2014

No comments

Kyadaaki loodi meeya wa Kampala Erias Lukwago ayingidde ofiisi ye wali ku city hall oluvanyuma lw’akabanga nga agobeddwa ba kansala. Wabula yadde nga  poliisi ekedde kuyiibwa okwetolola city hall emmotoka ssatu zikiriziddwa okuyingira city hall okuli eya loodi meeya, omumyukawe Sulaiman Kidandala ne ya banamateekabe. […]

Omwana akimazeeko bakadde be

Ali Mivule

March 29th, 2014

No comments

Abaana abato bwebabazzaako bakitwala mu ngeri ya njawulo. Abamu basanyuka ate abalala bayisibwa bubi era nebakyayiira ddala bato baabwe Kati nno mu ggwanga lya America, omwana omulenzi gwebazizzaako omuwala omulundi ogw’okubiri akubye emiranga egimazeeko bakadde be ebyewungula Bakadde b’omwana ono bakoze keeki mu ngeri y’okujaguza […]

Moyes ayanukudde abawagizi- Ssibyangu

Ali Mivule

March 29th, 2014

No comments

Omutendesi wa tiimu ya Manchester United, david Moyes kyadaaki avuddmeu omwaasi ku nkola ya tiimu ye. Ono agambye nti Ferguson nebweyandibadde y’aliwo yandisanze okubuzibu okufuna akalungi okuva mu tiimu eno. Manchester united nga yeeyatwaala ekikopo kya pulimiya omwana oguwedde eri mu kifo kya musanvu Abamu […]

Amakomero kattiro mu misiri

Ali Mivule

March 29th, 2014

No comments

Kizuuliddwa nti amakomera mu ggwanga lya misiri gafuuka bifo ebitulugunyizibwaamu Abasibe bakubwa emiggo, abakyala bakakibwa omukwano, abasibe beebamu bano babakubisa amasanyalaze nga bano tebalina gwebataliza babikola n’abaana Abantu abali mu mitwaalo 2 beebakayita mu bulumi buno mu bbanga elitaweza na mwaka Abasibe bano okwogera bino […]

Kasibante ayanukudde Museveni-Sijja kusirika

Ali Mivule

March 29th, 2014

No comments

Omubaka wa Rubaga North Moses Kasibante ayanukudde omukulembeze w’eggwanga eyatisatisiza okumukwata. Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta  Museveni yalabudde omubaka wa Rubaga North Moses Kasibante, okwewala okweyingira mu nsonga z’okuzimba omwala gwa Lubigi. Moses Kasibante agambye  nti wakungenda mu maaso n’okulwanirira abatuuze abasangibwa mu Kawala zone, abakoseddwa […]