Amawulire

Lukwago azze mu ofiisi

Ali Mivule

March 31st, 2014

No comments

Lukwago in Office

Kyadaaki loodi meeya wa Kampala Erias Lukwago ayingidde ofiisi ye wali ku city hall oluvanyuma lw’akabanga nga agobeddwa ba kansala.

Wabula yadde nga  poliisi ekedde kuyiibwa okwetolola city hall emmotoka ssatu zikiriziddwa okuyingira city hall okuli eya loodi meeya, omumyukawe Sulaiman Kidandala ne ya banamateekabe.

Wowulirira bino nga bali mu kulongoosa ofiisi ye addemu okulamula ekibuga

Lukwago yali yakoma okulinya mu ofiisi nga 25  November w’omwaka oguwedde nga era yaweze nti kyekiseera okuddamu okuwereza banakampala.

Ye omwogezi wa KCCA Peter Kaujju yategezezza nga bwebatalina mutawaana gwonna na kya Lukwago kudda mu ofiisi.