Olwali

Fooko emulakidde

Ali Mivule

March 26th, 2014

No comments

Folk in throat

Abantu abawakanira ebintu ebitali bimu tebaggwa

Ono wa nzaalwa ya Romania ng’asibye ensimbi nti asobola okumira fooko ekozesebwa okulya emmere.

Radu ow’emyaka 25, addusiddwa mu ddwaliro nga biwala ttaka oluvanyuma lwa fooko okumwekiika n’atandika okwenyoola.

Abasawo abalese banyeenya mitwe oluvanyuma lw’okumwekebejja nebalaba fooko ng’eremedde mu bulago.