Amawulire

Ebiragalaragala bikosezza ebyenfuna

Ebiragalaragala bikosezza ebyenfuna

Ali Mivule

June 26th, 2015

No comments

Bannayuganda okwongera okukozesa ebiragalaragala kitunuuliddwa ng’ebimu ku kusoomozebwa okwamanyi okwolekedde  eby’enfuna by’eggwanga. Okutya kuno kulagiddwa abakugu mu kujanjaba abalwadde b’emitwe nga eggwanga likuza olunaku lw’okulwanyisa okukozesa ebiragalaragala. Ng’ayogerako nebannamawulire wano mu kampala, akulira eddwaliro ly’abatabufu b’emitwe erye  Butabika David Basangwa agambye ku buli  balwadde 800 […]

Ekibba ttaka kikosezza ebyenjigiriza

Ali Mivule

June 26th, 2015

No comments

Minisitule y’ebyenjigiriza etegezezza nga eggwanga bweritayinza kuba nabyanjigiriza byamulembe nga ekibba ttaka ly’amassomero ga gavumenti tekinaggwawo. Bino byogeddwa minisita w’ebyenjigiriza Jessica Alupo mukiseera nga amassomerop agasinga gabiddwako ettaka . Nga ayogerako nebannamawulire ku ssengejjero lya gavumenti erya  ly’amawulire erya erya Media Centre, Minisita Alupo asabye […]

Jomayi ategeraganye ne Tumukunde

Jomayi ategeraganye ne Tumukunde

Ali Mivule

June 26th, 2015

No comments

Abatuuze ku ttaka lya Jomayi e Bujuuko baakedde kujaganya oluvanyuma lwa kkooti okulagira munnamaggye Brig. Henry Tumukunde okuwaayo ekyapa ly’ettaka lyabadde agobako Jomayi e Bujuuko mu bwangu. Mu ngeri yemu, Jomayi alagiddwa okusasula ssente akawumbi kamu Tumukunde zeyali ayimiriza okusasula Tumukunde olw’okumusaba ebyapa nga tabimuwa. […]

Enkambi ya Poliisi e Nsambya eyidde

Enkambi ya Poliisi e Nsambya eyidde

rmuyimba

June 26th, 2015

No comments

Poliisi enzinya mooto ekyagenda mu maaso n’okuzikiza omuliro ogukedde okukwata enyumba y’abaserikale ba poliisi mu nkambi e Nsambya. Famile z’abaserikale ezisoba mu 20 zezikoseddwa wabula akulira poliisi enzinya mooto Joseph Mugisa ategezeza nga mpaawo afiiridde mu muliro guno. Ekiviiriddeko omuliro guno tekinategerekeka. Sound.Mugisa fire cause/ […]

Eyatomerwa emmotoka za pulezidenti asaba buyambi

Eyatomerwa emmotoka za pulezidenti asaba buyambi

Ali Mivule

June 25th, 2015

No comments

  Bazadde b’omuwala ayatomerwa emotokamu luseregende lw’emmotoka z’omukulembeze w’eggwanga namenyeka amagulu nokumwabya omutwe basaba buyambi. Winnie Mutesi omutuuze we Wakiso mu Katawuni agamba yali mabbali ga kkubo wabula e motooka zamulumbayo bwezali ziziyiza emotoka endala okuyingira mu luseregedde lwa pulezidenti. Ono yatomerwa ku balaza ya […]

Mbabazi okwebuuza ku balonzi- bannamateeka

Mbabazi okwebuuza ku balonzi- bannamateeka

Ali Mivule

June 25th, 2015

No comments

Eyali ssabaminisita Amama Mbabazi teyamenye tteeka lyonna kutegeka nkiiko za kwebuuza ku bantu Munnamateeka omukuukuutivu mu kibuga Ladislas Rwakafuzi  agamba nti omuntu yenna alina enteekateeka okwesimbawo waddembe okwebuuza ku bantu kasita aba ng’ategeezezzaako akakiiko akalondesa Rwakafuzi agamba nti mu kadde kano, tewaliwo tteeka ligaana Muntu […]

Mao ayagala kisanja kirala

Mao ayagala kisanja kirala

Ali Mivule

June 25th, 2015

No comments

Akulira ekibiina kya DP Norbet Mao ajjeeyo foomu ng’ayagala kuddamu kwesimbawo ku bukulembeze bw’ekibiina kino Ono yegasse ku Dr Lulume Bayiga naye ayagala ekifo. Addukanya emirimu gy’ekibiina Peter Ssempijja agamba nti kwa bwa ssabawandiisi omuntu omu yeeyakajjayo foomu nga ye mubaka wa East Africa Fred […]

Omupoliisi alumirizza abagambibwa okutega bbomu

Omupoliisi alumirizza abagambibwa okutega bbomu

Ali Mivule

June 25th, 2015

No comments

Omupoliisi agambibwa okufuna sitatimenti yoomu ku basajja abavunaanibwa ogw’obutujju olwaleero naye awadde obujulizi. Moses Kato ng’akolera mu kiwayi ekinonyereza ku buzzi bw’emisango e Kibuli yoomu ku baawandiika sitatimenti y’omu ku bagambibwa okutega bbomu ze Kyaddondo ne Kabalagala. Munnansi wa Kenya ono Mohammed Ali yakkiriza okubeera […]

Abayizi bayidde omuliro

Abayizi bayidde omuliro

Ali Mivule

June 25th, 2015

No comments

Omuliro gukutte ekisulo kya bayizi ne gwookya babiri e Mukono. Truddy Namuswe ow’emyaka 19 ne Racheal Ntamanyire 20 nga bombi bayizi kutendekero lya YMCA e Mukono bebalimukunyiga ebiwundu oluvanyuma lwa bulb okwabika omuliro negwokya ekisulo kya Media hostel obutasigala kantu konna. Nanyini kisulo kino aganye […]

Akulira abayekeera ba ADF Jamiru Mukulu wakudda wano

Akulira abayekeera ba ADF Jamiru Mukulu wakudda wano

Ali Mivule

June 25th, 2015

No comments

KKooti mu ggwanga lya Tanzania eragidde nti aduumira abayekeera ba ADF Jamil Mukulu akomezebweeyo mu Uganda avunaanibwe emisango gy’ettemu. Omulamuzi wa kkooti ento mu kibuga Kisitu Cyprian Mkeha agambye nti Mukulu alina kuggulwaako misango gya ttemu sso ssi gyabyabufuzi. Omulamuzi agambye nti akakasizza nti emisango […]