Amawulire

Mbabazi okwebuuza ku balonzi- bannamateeka

Mbabazi okwebuuza ku balonzi- bannamateeka

Ali Mivule

June 25th, 2015

No comments

File Photo : Eyali sabaminisita we gwanga

File Photo : Eyali sabaminisita we gwanga

Eyali ssabaminisita Amama Mbabazi teyamenye tteeka lyonna kutegeka nkiiko za kwebuuza ku bantu

Munnamateeka omukuukuutivu mu kibuga Ladislas Rwakafuzi  agamba nti omuntu yenna alina enteekateeka okwesimbawo waddembe okwebuuza ku bantu kasita aba ng’ategeezezzaako akakiiko akalondesa

Rwakafuzi agamba nti mu kadde kano, tewaliwo tteeka ligaana Muntu kukola kino nga poliisi bw’egamba

Ono agamba nti poliisi erina okwewala okukozesebwa okulemesa abantu okunyumirwa eddembe eribaweebwa ssemateeka

Poliisi yategeezezza dda nga bw’etagenda kukkiriza Mbabazi kwebuuza ku balonzi okujjako ng’amaze kukwatagana na kibiina kye

Bbo bannakibiina kya NRM bakumbye ku nguudo mu kibuga kye Jjinja nga bawakanya ekya Mbabazi okwesolowoya neyesimba ku pulezidenti Museveni.

Nga bakumba n’ebipande, bano bagambye nti Mbabazi mulabe wa NRM.

Nga bakulembeddwamu Paul Rwecungula,, abeekalakaasa bano basabye Mbabazi okusazaamu enteekateeka ze kubanga era ssi wakuwangula

Bano bakumbye okuyita mu kibuga kye Jjinja okutuukira ddala ku wofiisi ya RDC era nga bano poliisi tebakubye ku mukono.