Amawulire

Jomayi ategeraganye ne Tumukunde

Jomayi ategeraganye ne Tumukunde

Ali Mivule

June 26th, 2015

No comments

Esiteeti ye Bujuuko nga bwefanana (3)

Abatuuze ku ttaka lya Jomayi e Bujuuko baakedde kujaganya oluvanyuma lwa kkooti okulagira munnamaggye Brig. Henry Tumukunde okuwaayo ekyapa ly’ettaka lyabadde agobako Jomayi e Bujuuko mu bwangu.

Mu ngeri yemu, Jomayi alagiddwa okusasula ssente akawumbi kamu Tumukunde zeyali ayimiriza okusasula Tumukunde olw’okumusaba ebyapa nga tabimuwa.

Abatuuze bino mu esiteeti eyo bino olubagudde mu mattu nebajaganya nga bagamba nti bawonye kubanga Tumukunde abadde abamazeeko emirembe ng’akeera kubagobaganya so ng’ate bbo ettaka baligula ku Jomayi.

Akulira kkootoi ey’ebyobusubuuzi, Hon. Justice David Kutosi. Wangutusi yatuzizza akuliora Jomayi Joseph Yiga Magandazi ne munnamaggye nabalagira okukkanya era bagenze okwabuka nga Tumukunde alagiddwa okutwaala mu kkooti ebyapa ne Jomayi nalagirwa okusasula ebbanja.

Jomayi wakusasula Tumukunde obukadde 280  buli mwezi okumala emyezi ena ng’atandika n’obukadde 100 mu wiiki esooka okuva lwebategeraganye.

Enjuyi zombie zategezezza nti netegefu okussa mu nkola ebyo kkooti byeyabatusizzaako.

Jomayi yatwaala Tumukunde mu kkooti mu February oluvanyuma lwa munnamaggye okusazaamu endagaano gyebakola ku ku diiru y’ettaka ku eliwerako yiika 200 ku Block 31, Plot 11,24,29,30, 31, 32 ne 33.

Yaliguza Jomayi mu ndagaano gye bassaako omukono nga 10th December 2012 ku ku buwumbi 3.5bn nga Jomayi yalina okuzisasula mu bitundu bisattu eby’ekyenkanyi mu myezi 3.

Wabula ekiseera kyatuuka Jomayi okubanja ebyapa Tumukunde natabimuwa olwo nayimiriza okumusasula ekyavaako Tumukunde okugenda mu mawulire nalanga nti yali asazizaamu endagaano ne Jomayi.

MUnnamateeka wa Jomayi Felix Kintu owa Kintu & Company Advocates yategezezza nti byonna byebasaba kkooti yabibawadde.

“TWagisaba okulangirira nti Tumukunde yamenya mateeka okumenya endaagano era nga twagala emulagire atuwe ebyapa byaffe tumusasule ebbanja lye. Byonna twabifunye era tuli basanyufu,” Kintu bwe yategezezza.

Ebbanja lyonna okutwalizaa awamu liweza 1,120,000,000/- nga lyakusasulwa mu myezi ena.

Abatuuze bogedde

Ssentebe Nkambo A LC I e Bujuuko awasangibwa ettaka lino, Yusuf Musoke yasanyukidde kkooti okulagira Tukunde okuwaayo ebyapa nti kino kigenda kuzza emitima ky’abatuuze mu nteeko.Yasabye ebyakkiriziganyiziddwako enjuyi zombie okubissa mu nkola olwo abatuuze bafune ebyapa byabwe. Yasabye Tumukunde obutaddamu kutiisatiisa bantu.

John Nkunda: Tumukunde abadde atubuzizaako wetunywera amazzi. Olumu yajja n’emmundu natiisa bwayinza okulagira esikooti we okunkuba amasasi, nemugmba nti sirina kyakukola. Mbadde kubutaakye kyokka nze namuddamu nti sinze mba nsoose okufa.

 

Kulusuum Kagoya: Tuwonye okutisibwa abajaasi. Kkooti yebale okusala amazima kubanga tubadde tubala lukya, essaawa yonna nga tulowooza kuttibwa. Abamu twaali tulimye emmeere yaffe naleeta ente nezigirya yonna.

Jalia Musoke: Nsanyukidde nnyo Jomayi obutatulekerera ng’omuntu eyatuguz a ettaka. Tubadde ku bunkenke kyokka abadde bumu naffe. NZe n’okuzimba nail nkuyimiriza kyokka kantandikire wenakoma.

Rita Naiga: Nebaza Katonda okulaba nga tugenda kuddamu okufuna emirembe. Nze ku kyalo babadde baampita m,ulalu nga buli lwenengera mmotoka ya Tumunde nziluka nga bwendi. N’okufumba ku nku nail nkuyimiriza kubanga buli basajja ba Tumukunde lwe babadde balaba omukka nga batulumba.

Sam Baguma: Ndi ku kakiiko akabadde kalungamya enjuyi zombie naye nsaba abantu okuli Ochieng Titus ababadde bajja essente ku bantu ku lowa Tumukunde azibaddize. Abatuuze bonna ababadde bayimiriza okuzimba mukomewo mukolerere ku ttaka lyammwe.