Olwali

Omukadde agudde mu kabuyonjo

Ali Mivule

October 13th, 2014

No comments

Omukadde abadde anoonya erinnyo lye agudde wansi mu kinaabiro aseeredde n’agwa mu kabuyonjo Abaziinya mooto bayitiddwa bukubirire okutaasa namukadde kano ow’emyaka 85 ng’omukono gwe gumaze essaawa kumpi nya nga gulaalidde mu kabuyonjo Omukadde ono asangiddwa muzukkulu we akubye enduulu esombodde abantu Ono bamuyiyeeko sabuuni w’amazzi […]

Akabumbe kafuuse ekyerolerwa

Ali Mivule

October 13th, 2014

No comments

Mu ggwanga lya Japan waliwo akabumbe k’omukyala akassiddwa mu kibuga ng’omwenge gayiika okuva mu bbeere lyaako Akabumbe kano era kaliko n’abakyakaze nga banyiga ebbeere ly’akabumbe , nga balembese ne giraasi okufuna ku mwenge Buli ayita ku kabumbe kano asigala awunikiridde ng’abakakoze tekinnategerekeka lwaki bayiiyizza bwebati

Lunaku lwa butambala buleega

Ali Mivule

October 13th, 2014

No comments

Olwaleero mu nsi yonna lunaku lwabutayambala buleega eria bakyala Olunaku luno lwassibwaawo okukwatagana n’omwezi gw’okulwanyisa kokoolo w’amabeere Bannasayansi bagamba nti omuntu tasobola kwogera ku bbeere n’aleka akaleega era nga bakuutira abakyala okutwala akaleega ng’ekikulu. Ekyewunyisa nti yadde olunaku luno lwa bakyala, lusinze kusanyula baami mu […]

Amabeere agakozeemu omuzigo

Ali Mivule

October 10th, 2014

No comments

Omukyala ayonsa asazeewo okunyiga amabeere ge n’agakolamu omuzigo ng’ennaku zino gw’alya Omukyala ono amaze essaawa namba n’akama mata era nga gatuuse n’okuvaamu amata nga gakutte Omukyala ono agambye nti akimanyi nti amabeere galimu ebiriisa byonna nga y’ensonga lwaki tayagadde kubisubwa

Avumye abapoliisi abawangulidde ne mu kkooti

Ali Mivule

October 8th, 2014

No comments

Omusajja gwebatwaala mu kkooti oluvanyuma lw’okukwata ebifananyi by aba poliisi alabiseeko mu kkooti ng’ayambadde T-shirt eriko ebigambo ebibavuma Michael Burns owe Florida ategeezezza omulamuzi nti tamanti lwaki abapoliisi bamwetikka ate nga baali mu kifo kya lukale Omusajja ono yadde T-shirt ye ebaddeko ebigambo ebivuma, omusango […]

Ekiwuka mu kutu

Ali Mivule

October 7th, 2014

No comments

Abantu bangi bagayaalirira amatu gaabwe. Kati mu ggwanga lya Buyindi, omusajja amaze ebbanga ng’akutu kumuwuuma kimuweddeko , bw’agenze mu ddwaliro nebamusangamu ekiwuka ekyakuula Ekiwuka kino ekyefananyirizaako ekiyenje kyasooka yo mutwe era nga bakozesezza byuuma okukisikayo. Ekiwuka kino kigambibwa okuba nga kirabika kibadde kitandise okumanyiira nga […]

Ayiikudde entaana okufuna eddaame

Ali Mivule

October 6th, 2014

No comments

Omuwala abadde ayagala eddaame lya kitaawe eyafa asazeewo kuyiikuula malaalo Wabula ono by’asazeeyo bikimumazeeko ng’asaze mu ngalo za kitaawe mulimu paketi ya sigala Omuwala ono nno abadde aludde nga yekwasa banne nti kirabika bamutwalako ebintu n’okukyuusa mu ddaame

Omwana awasizza nyina

Ali Mivule

October 6th, 2014

No comments

Ebyempuna tebiggwa mu nsi eno Omuvubuka awasizza nyina omuto nga nekitaawe alaba Bano nno basoose kulemesebwa kubanga mu Bufaransa, obufumbo bw’omwana ne nyina tebukkirizibwa Wabula baddukira mu kkooti era n’ebakkiriza okufumbirwagana kyokka ng’ekyewunyisizza kwekulaba nga ne kitaawe yeetabye ku mikolo

Embwa yesimbyeewo

Ali Mivule

October 3rd, 2014

No comments

Mu kibuga Oakland ekya California embwa yesimbyeewo ku bwa meeta Embwa eno ewagiddwa abamu ku bakulu ku kyaalo abagamba nti ejja kutegeera bulungi esonga zaabwe Abakulu bano abatambula n’embwa eno nga bagiyiggira akalulu bagambye nti kino bakikoze okujja obuyinza waggulu okubuzza mu bantu

Omwana atalina maaso, nyindo wakulongoosebwa

Ali Mivule

September 30th, 2014

No comments

Omulenzi eyazaalibwa nga talina maaso , nyindo oba mimwa wakulongoosa feesi ye eterezebwe Yahya Zohra yazaalibwa bw’ati olw’amagumba agaana okwekola ng’ali mu lubuto Bazadde b’omwana ono abava mu ggwanga lya Morocco balemererwa okufuna omukugu mu ggwanga lyaabwe nga kati baamututte mu ggwanga lya Australia okukolebwaako