Olwali

Embwa esitula omwenge

Ali Mivule

October 30th, 2014

No comments

Abagaazi b’omwenge gyebali nga bbo bayiiya engeri yonna gyebayinza okugufunamu ate nga tebatawaanye Kati mu Australia, omusajja ayigirizza embwa ye engeri y’okumuwereeza omwenge okuva mu firiigi Josh embwa eno agiyigirizza nga buli lw’ayogera nti awulira enyonta, ng’embwa eno edduka eggulawo firiigi, n’ejjayo eccupa ya bbiya […]

Eyeberese ku mbwa masasi gegamujjeeyo

Ali Mivule

October 28th, 2014

No comments

Omukazi asanze omusajja nga yeberese ku mbwa ye emundu yemuzizza engulu Alice omusajja ono amasanze mu nnimiro yaabwe nga yeemalira eggoga ku mbwa Omukazi ono akubye amasasi mu bbanga kyokka ng’ekyewunyisa nti omusajja ono tayimirizzaamu asigadde yefulubejja

Ani asinga ekirevu

Ali Mivule

October 28th, 2014

No comments

Kati ebiseera ebisinga tuwulidde empaka nyingi ezewunyisa okuli n’ezabasinga okunywa omwenge. Kuluno mu kibuga Portland mu ggwanga lya Amerika abasinga okubeera n’ebirevu ebiwanvu bebavuganyizza. Ba mandeevu abasoba mu 300 besowoddewo neboolesa ebirevu era buli musono gubadde wali okuvira ddala ku bilimu envi n’ebirala. Madison Rowley […]

Eyalimba nti Kiggala abikooye

Ali Mivule

October 27th, 2014

No comments

Omuwala abadde yalimba muganzi we  nti kiggala abikooye n’amubuulira amazima Omuwala ono agamba nti nga yakalaba muganzi we yamugamba nti kiggala mu by’okusaaga ng’amulemesa kyokka kyamuggwaako omusajja ate bwekyamusanyusa n’ayongera okumwagala Omuwala ono agamba nti wabula abadde akooye okwebuzabuuza ng’alina okwefuula atawulira Agambye nti oluusi […]

Omwana muzibe asuna ennanga

Ali Mivule

October 25th, 2014

No comments

Omwana omuto muzibe kyokka nga takuba nnanga bitooke by’ebigwa afuuse ekyelolerwa Omwana ono wa Myaka esatu nga kyokka ayagala nnyo okuwuliriza enyimba Omwaka guno emabega, Branko ono eyazaaliwa nga muzibe yatandika okukuba ennanga era buli lukya ayongera okuyiga .

Omuti gulwaanya n’omusajja

Ali Mivule

October 24th, 2014

No comments

Omusajja abadde akuba amasasi ku muti nga yegezaamu ataddeko kakokola tondeka nyuma nagwo bwegutandise okumuddiza Omusajja ono ategerekese nga Dave abadde ayiga kukuba mmundu kyokka ng’olutandise okukuba omuti ogumu nagwo negutandika okusuula amatabi naye tabadde mubi n’adduka Omuti guno gumaze negugwiira ddala w’abadde ayimiridde.

Ono tasaaga, asabye poliisi enjaga

Ali Mivule

October 24th, 2014

No comments

Abantu bamu bayitiriza okwemanyiiza ebintu ebimu  nga bwbeibulawo wakiri okwetta Kakati mu Georgia, omusajja gwebasibye okumala ebbanga amize ppini n’asaba omupoliisi okumuwa kunjaga Omusajja ono agambye nti ebirowoozo bibabdde bibula okumutta nga y’ensonga lwaki asabye omupoliisi enjaga Bamwongeddde ekibonerezo

Omusajja eyakula n’awola

Ali Mivule

October 22nd, 2014

No comments

Kati munsi waliyo abasajja abatawena. Mu ssaza lya Florida waliwo omusajja eyakula n’awola akwatiddwa nga atwalibwa mu kkomera wabula n’alema okuja mu kamotoka ka poliisi. Howard Hendrix  nga azitowa pawundi 500 era nga muwagguufu yewunyisizza poliisi nga emmotoka gyebaleese okumuteekamu tagyamu. Okukakana batumizza mmotoka kika […]

Ayingidde mu Kkomera ng’aliyita bbaala

Ali Mivule

October 21st, 2014

No comments

Omukyala enzaalwa ya America abadde atamidde akwatiddwa bw’ayingidde ekkomera ng’aliyita baala. Omukyala ono atatuuddwa mannya kyokka nga wa myaka 39 abadde agenze mu bbaala kukima lulenzi lwe nga luno lwamusuubizza nti bakusisinkana mu bbaala Omukyala basoose kumuwulira ng’awunya omwenge kyokka bagenze okumussaako kawunyemu nga takyalina […]

Munnakatemba bimuweddeko

Ali Mivule

October 14th, 2014

No comments

Omuzannyi wa Katemba abadde ku siteegi ng’asanyula abantu bimukalidde ku matama poliisi bw’eyingiddewo n’ekwata omu ku b’abadde asanyusa Adam Newman ow’omu kibuga Newyork asoose kukola mu ba poliisi bano katemba ng’alowooza banaleka omuwagizi we kyokka nga ssibwegubadde Aba poliisi bano nno abatawena ate beebamuwogganide nga […]