Olwali
enjaga mu bimuli
Abaddukanya ekibuga ekimanyiddwa nga Kazakh batandise okunonyereza ku njaga ebadde erimibwa mu bimuli by’ekibuga Abatuuze beebalabye ng’ebimuli bijimuse nga bijjuddemu njaga ng’ebadde ewunya n’okuwunya ku nguudo Abaddukanya ekibuga kino bagamba nti bagala akuzuula oba enjaga eno yalimwa mu butanwa oba mu bugenderevu
Ono kimuweddeko
Omukyala eyafiirwaako mwanyina ebigambo bimuweddeko bw’asanze omusajja omulala ng’alina feesi y’ey’omugenzi Richard Norris ow’ewaka 39 feesi ye kumpi yaggwaawo bweyekuba amasasi mu butanwa mu mwaka gwa 1997 kyokka n’aweebwa feesi endala ey’omusajja eyali afiiridde mu kabenje Omukyala ono olulengedde omusajja ono asoose kusooka kuwakana ng’alowooza […]
Abadde ayagala okufuuka omukazi afudde
Omusajja eyekubye eddagala ng’ayagala okumera amabeere yetabe mu mpaka z’obwa nalulungi afudde tafunye mu ntuuyo ze Juan Manuel Sanchez,ng’abadde yeeyita Bebo abadde ayagala kwetaba mu mpaka z’obwa nalulungi mu Mexico
Ayidde
Omusajja eyawalampye ekizimbe ng’ali bukunya, bamujjeeyo tamanyi kiri mu nsi oluvanyuma lw’ekyuuma okumwokya Omusajja ono tategedde nti abadde ayimiridde wakati w’ebyuuma era omukka gwebifulumya gumubabudde yenna Ekimututteyo nze naawe kyokka nga bibadde mu kibuga Florida
Ono talina bbuba
Abasajja bangi bwebategeera abasajja ababagaalira abakyala babajjirayo majambiya Ssi bwegubadde eri omuvubuka ategedde nti mukyala we abaddeyo n’omuvubuka ebbali Ono ng’ayita mu ssimu ya mukyala we afunye essiimu ya musangi we n’amuggulako omukwano era okukkakkana nga balidde ekyemisana Omusajja ono agambye nti abadde ayagala kumanya […]
Okutuula ku ttooyi kibi
Abantu bangi ennaku zino bettanira kabuyonjo enzungu ezitulwaako naye obadde okimanyi nti kibi okutikkula ng’otudde Ekitabo ekijja ekifulumiziddwa kigamba nti buli lw’otuula ng’ofuluma etuulira emisuwa era nga kisobola okuvaako obulumbi ng’omuntu afuluma Awandiise ekitabo kino amanyiddwa nga Enders agamba nti omuntu asaanye okusitama okwewala ebizibu […]
Embizze yerippye ku mukazi
Waliwo embizzi eyakula n’ewola egezezzaako okugwiira omukyala okumukaka omukwano mu maaso g’emmotoka ye Kino kibadde mu ggwanga lya New Zealand ng’omukyala ono asoose kugoba mbizzi eno ebadde wakati mu luguudo w’abadde alina okuyita Omukyala ono afulumye mu motoka okugigoba kyokka n’emusimbako era okukkakkana ng’emujjeemu empale […]
Embwa ekubye emmotoka mu kidiba
Embwa ebagudde kabangali ya mukama waayo n’egivuga egiremedde okukkakkana ng’egikubye mu kidiba ekiwugirwaamu Embwa eno obwedda etude mabega kyokka nga bakama baayo bwebavuddemu okugenda mu supamaketi n’ebagulawo emmotoka Ekirungi nti ekidiba kino tekibaddemu mintu era tewali alumiziddwa
Atambuzza ekidomola afunye emitwalo 40
Omusajja ow’emyaka 33 atambudde mailo 16 n’ekidomola kya liita 20 nga tawummuzza era neyewangulira emitwalo 40 Japhet Mwebembezi omutuuze we Kyanamukaaka atambudde olugendo lwa mailo 16 mu mpaka z’abaddemu ne munne ategerekese nga Paul Muwonge Mwebembezi ategeezezza abatuuze nti asobola okutambula okuva e Kyannamukaaka okutuuka […]
Afuse mu kyuuma kya Ice
Omusajja enzaalwa ya Bungereza abadde agenze okukyalako mu Florida aggaliddwa lwakufuka mu kyuuma ekikola icecream Andrew Wood ow’emyaka 41 awabiddwa omukuumi amulabye ng’akola ekikolwa kino. Omusajja ono agambye nti abadde ayagala kulaba icecream bw’afanaana ng’atabuddwaamu omusulo