Amawulire
Abafumbo abamaze emyaka 75 bafudde babiri
Abafumbo abamaze emyaka 75 nga bali wamu basangiddwa mu buliri nga bafudde babiri Jeannete ow’emyaka 96 Toczko afudde ne Bba ow’emyaka 95 Alexander nga bukwataganye mu ngalo Bano bamu kibuga San Diego ekya California nga basisinkana ba myaka 8 nebafumbirwa mu mwaka gwa 1940 nebazaala […]
gwebasaze obubi enviiri agenze ku poliisi
Omukyala gwebasaze obubi enviiri ensonga zitutte ku poliisi Omukyala ono ow’enzaalwa ya Bungereza akubidde poliisi ng’agyebuzaako oba asobola okutwala ensonga eno mu kkooti Omukyala ono era ategeezeza poliisi nti agaanye okusasula kale nga ssinga nanyini saluuni abaloopera tebebuuza lwaki tasasudde
Abakazi mu Japan bagezze amabeere
Mu ggwanga lya Japan , abakyala bongedde okugejja amabeere n’obuleega obutono teri agula Abatunda obuleega bagamba nti ennaku zino obuleega bwebasuubula bubadibako yadde nga luli obutono bwebubadde butunda Aba japan beebabadde basinza obuleega obutono .
Watermelon azaabya na bisambi
Waliwo omukyala afuuse akyelorerwa lwakwaasa Watermelon ng’akozesa ebisambi bye Omukyala ono Watermelon agissa wakati w’ebisambi olwo n’akozesa amaanyi melon n’eyabikamu Taliiko kipimo ng’ennene n’entono ezaabya kyeekimu
Afuse w’atudde
Abantu bangi banyumirwa byebakola nga wakiri emmere ebayitako Kakati yye omusajja abadde ku kyuuma kya zzaala nga tayagala kuyimuka asazeewo kufuka w’atudde Ababadde mu kifo balabye bukulukuta era okugobereza amaaso ng’omusajja ono empale ye yenna etobye
Omugoba w’enyonyia kata agikube ekigwo
Ng’abantu basimbula okutandika olugendo basooka kwekebera kulaba oba balina buli kyebetaaga Kakati omugoba w’enyonyi abadde yakasimbula n’alengera omuntu alina amagulu ana, kati enyonyi egikube ekigwo bw’atandise okukankana Wakati mu kwetegereza Muntu kika ki ono, bakizudde nti kkapa ebadde yalinnye enyonyi
Adduse buswa okuyita mu supamaketi
Waliwo omusajja eyeyambudde engoye neyeyiira amata olwo n’ayita mu supamaketi ekikumi nga yenna ajjolobadde Ono adduse awogganira waggulu nti omuliro gukutte. Akatambi kano akatwatiddwa mu Bungereza nga kalaga omusajja ono mu kikolwa katunda nga keeki eyokya ku yintaneeti
Ayoya ssabbuuni
Abakyala bayoya ebintu bingi nga bali mbuto nga n’ebimu byewunyisa Kati mu Bungereza, waliwo omukyala ali olubuto nga yye ayoya ssabbuuni Jess Gayford ow’emyaka 26 yatandikira ku kulya ssabuuni w’ebitole n’awoomerwa era okuva olwo tadda nga mabega .
Kkapa ebafuukidde ekyetere
Mu kibuga Stamford, waliwo abafumbo abaddukidde ku poliisi nebawaaba kkapa yaabwe lwakubalemesa kuyingira mu nyumba Okusinziira ku sitatimenti gyebakoledde ku poliis, kkapa eno eyimiridde mu mulyango nga buli lwebagezaako okuyingira ng’ezimba n’efuuwa Omusajja agambye nti mu kugezaako okugiyitako, emukwagudde ku kugulu n’emuluma nga y’ensonga lwaki […]
Owagganye mu kaboozi asibiddwa
Mu kibuga Birmingham, waliwo omukyala aggaliddwa lwakunyumirwa kaboozi n’awogganira na neyiba Gemma Wale ow’emyaka , 23 awereddwa ekibonerezo kya wiiki bbiri mu kkomera lwakuwogganira balala Omukyala ono awuliddwa ng’awoggana okusukka mu dakiika 10 olwo nebayita poliisi emuyodde