Olwali
Agezezzaako okutta omulambo
Waliwo omusajja asingisiddwa omusango gw’okugezaako okutta omufu Bino bibadde mu ggwanga lya Australia. Daniel Darrington kigambibwa okuba nti yakuba essasi eryakwata omulambo n’ekigendererwa ky’okugutta omulundi ogw’okubiri.
Omuwala embereera aleese obujulizi
Omuwala eyasuubiza kitaawe nti ajja kwekuuma azze n’ebbaluwa y’abasawo eraga nti abadde akyaali mbereera ku mbaga ye. Omuwala ono Brelyn Bowman ebbaluwa ye gy’akwasizza kitaawe ng’eriko omukono gw’omusawo nti mu butuufu abadde talabanga ku musajja. Ono afumbiddwa muganzi we gwebagaalanye okuva mu buto era nga […]
KKapa egangayidde
Kkapa eyanywedde n’egangayira erayidde obutaddamu kukwata ku ccupa oluvanyuma lw’okugoyebwa omwenge kumpi kumala wiiki musanvu Ka kkapa kano akamanyiddwa nga Alijosha kaanywedde eccupa za wayini ssatu eza neyiba bwekabadde katambula agaako. Nanyini ko agambye nti okumala wiiki musanvu ng aka kkapa kano tekasobola kutambula era […]
Teri nsimbi za kaleega
Mu ggwanga lya Australia , waliwo ekifo ekirirwaamu ekiweze ensimbi eziterekebwa mu kalega ne mu mpale z’omunda Abaddukanya ekifo kino bagamba nti bwebanyuka babadde babala ensimbi naye ng’ezisinga ziwunya entuuyo era nga batebereza nti zino baba bazikulidde
Abadde akungubaga bamugobye ku ssomero
Maama w’omwana eyagaana okumusindika ku ssomero nga kitaawe afudde ayolekedde okusindikibwa mu kkomera. Omwana ayogerwaako wa myaka 11 nga yagaana okugenda ku ssomero ng’asiiba akaaba olw’okufiirwa kitaawe Wabula omwana ono kati bamugobye ku ssomero lwabutasoma nga ne nyina ayolese okusindikibwa mu kkomera
Amize agaleeta amaanyi g’ekisajja akanuse
Omusajja amize amakerenda agaleeta amanyi g’ekisajja amaze ennaku ttaano ng’agaludde Ono amakerenda nno agamize akyalidde mukwano wakati mu lwali n’okuwakana nti amakerenda tegakola Omusajja yafuniddewo kamunguluze n’alwaala era bw’atyo n’atandika okukuba enduulu. Bya mu Amerika
Dduyiro atuusa ku ntikko- basawo
Abakugu mu byobulamu bakizudde ku buli bantu kkumi abakola dduyiro, omu atuuka ku ntikko. Omusawo omukugu mu bya dduyiro Dr Debby agambye nti kisinga kubaawo ssinga omuntu akola dduyiro alimu okuwanika amagulu. Gwe akola duyiro twetaaga bujulizi.
Beyanika ku musana okukogga
Mu ggwanga lya Hong Kong, abakyala bakeera kwekalirira ku musana okusobola okusala amasavu n’obuzito. Bano nno omusana bagutunulamu butereevu nti gubayambe okusala obuzito Abakugu balabudde dda nti bano boolese okufa amaaso ssinga tebakikomya
Yiino enjiibwa ekukusa enjaga
Waliwo enjiibwa ekwatiddwa ng’eyingiza enjaga mu kkomera mu ggwanga lya Costa Rica . Enjiibwa eno ebadde esibiddwaako enjaga mu kisawo ng’erimu gulamuzi 14 Eno esaliddwa ekibonerezo kyakusibwa ennaku 40.
Omukazi yerabidde omwana we olw’akaboozi
Waliwo omukyala kasobeza eyerabidde omwana we ow’emyezi esatu n’afa ng’obuzibu bwonna kaboozi Omukyala ono abadde asitudde omwana ng’amutwala mu ddwaliro omusajja amusigudde n’amulesaawo omwana amusanze ku siteegi webalindira baasi. Ono aleseewo omwana n’agenda n’omusajja ono mu nju ye okumala essaawa mwenda era agenze okudda nga […]