Olwali

Okuganza mukozi munne- bangi tebawangaala

Ali Mivule

September 10th, 2014

No comments

Abantu bangi boogera bubi eky’okwagala abantu bebakola nabo naye nga bangi bakikola Kigambibwa okuba nti ku buli bantu 20 b’osanga, 1 aba yaganza omuntu gw’akola naye Kigambibwa okuba nti abantu bangi batuuka n’okuviiramu webatalaga nga byonna babikola okubuzabuuza abalala ku mirimu gyebakolera. Wabula okunonyereza kuno […]

KKapa esala weyiti

Ali Mivule

September 10th, 2014

No comments

Emu ku kkapa eyakasinga obunene mu nsi yonna etandise okusala amasavu Kkapa eno etandise na kudduka misinde. KKapa eno emanyiddwa nga King Leo esangibwa mu kibuga Tennesse Ya myaka 10

Amukyaaye lwakusaba kaboozi

Ali Mivule

September 8th, 2014

No comments

Omusajja abadde akooye mukyala we ayagala akaboozi okukira emmere asazeewo bawukane Omusajja ono ensonga azitutte mu kkooti ng’agamba nti akooye okumukulusanya era ne kkooti n’ewuliriza okusaba kwe Abafumbo bano bagattibwa mu mwaka gwa 2012

Eyagwa ku kabenje atandise kwogera lu china

Ali Mivule

September 5th, 2014

No comments

Omusajja amaze wiiki nnamba ng’azirise oluvanyuma lw’okugwa ku kabenje agenze okudda engulu ng’ayogera lu China. Ben McMahon okuva mu Australia atiisizza  abenganda ze bw’atandise okwogera byebatategeera Ono ng’alaba abantu bamutunuulira mu ngeri eyewunyisa, abasabye ekkalamu n’awandiika wansi kyokka ng’era mu lu China Bakadde be bagamba […]

Akaboozi kamucankalanyizza

Ali Mivule

September 4th, 2014

No comments

Mu ssaza lya San Antonio mu Amerika, omusajja alumbye munne mu kisenge mwebasula n’amufumita ebiso lwakumuwoganira  nga anyumya akaboozi. Gwebafumise abadde ajaguza mazaalibwa ge era nga abadde yebagazze abakazi babiri bamuwe ku ssanyu. Ono amazaalibwa agamalidde mu ddwaliro.

Asinga obukadde awezezza emyaka 127

Ali Mivule

September 2nd, 2014

No comments

Omukyala asinga obukulu mu nsi yonna ng’ono nzaalwa ya Mexico yawezezza emyaka 127 ku lunaku lwa ssande Lumbreras agamba nti yazaalibwa nga 31 ,mu mwezi gw’omunaana mu mwaka gwa 1887. Ab’enganda ze bagamba nti ekyaama ekituusizza omukyala ono ku bukadde buno kwekulya chocolate, okwebaaka ennyo […]

KKapa zeeyagala luno

Ali Mivule

September 2nd, 2014

No comments

Abazungu bbo buli lukya bayiiya birala Bano nno mwebagaalira ebisolo bayiiya ka taapu akakozesebwa kkapa okunaabako n’okunywa amazzi Ka taapu kano kamaze okukozesebwaako mu mawanga agawera era yonna gyekatuuse, bu kkapa bukuba bulatti.

Akooye amazzia amabisi

Ali Mivule

September 1st, 2014

No comments

Ebibbisa abantu tebiggwa mu nsi eno, Mu kibuga Lextington mu America, omusajja akwatiddwa lwakumenya nyumba ya Neyiba ng’ekimutwalayo kunaaba ku mazzi gookya Ryan Carpenter  ayise mu dirisa okutuuka mu nyumba Omusajja ono bw’abuuziddwa lwaki amenye enyumba ya Neyiba agambye nti abadde akooye okunaaba amazzi amabisi

Keeki y’omumbejja Diana etundiddwa buwanana

Ali Mivule

September 1st, 2014

No comments

Abantu bangi ekibatwaala ku mbaga keeki. Kati ate yyo mu Bungereza keeki bagitadde ku ddaala ddala nga keeki esayalibwa omulangira Charles n’omumbejja Diana mu mwaka gwa 1981 etundiddwa doola 1,375 nga mu za wano bwebukadde busatu n’ekitundu Bw’owulira keeki oyinz aokulowooza nti nnamba naye kabajjo […]

Ono tafiirwa- alidde kalimbwe w’ekinyonyi

Ali Mivule

August 29th, 2014

No comments

Abantu abamu baaba tebafiirwa Omukyala abadde anuuna ice cream ekinyonyi nekimuwalukako tayimirizaamu asigadde anuuna   Bino bibadde mu ggwanga lya New Zealand Omuwala ono ekyewunyisa takyusizza yadde ne ku feesi okulaga oba kalimbwe abadde akaawa ekiraga nti awoomeddwa