Olwali

Omusota gumulumbye mu kabuyonjo

Ali Mivule

November 4th, 2014

No comments

Omukyala abadde ali ku mirimu emikulu mu kabuyonjo, bimuweddeko omusoto ogwakula bwegumubozze Omukyala ono ow’emyaka 57 enzaalwa eya Thailand, omusota guno gumusimbye amannyo ku  mukono n’okugezaako okumwetoloola okumukuba ekigwo Wabula akutte olweeyo lw’ekiti n’akuba omusota guno nga bw’ayita nemuwala we omuyamba neyetawuluuza ku musota guno […]

Kanyonyi akasimbye ku bbaala

Ali Mivule

November 3rd, 2014

No comments

Omusajja abadde avuga enyonyi enyonta y’omwenge n’emukwata, agisimbye wabweeru wa baala olwo neyewaamu Omusajja ono enzaalwa ye Australia olumaze okugisimba, yesozze ebbaala n’anywamu Poliisi nno ayanguye okumussaako kawunyemu kyokka ng’ayiseewo . Ekyewunyisa omusajja ono agambye nti talina bbaluwa evuga nyonyi kyokka takoonangako

Kimuweddeko

Ali Mivule

October 31st, 2014

No comments

Mu ggwanga lya China omukyala ayagadde okukakasa oba bba tamulekeewo nga bakaddiye amalidde mu maziga Omukyala ono abadde agenda okugattibwa ne bba asazeewo bamusseeko make up amufuula omukadde era nebakimukolera Omugole omusajja olumukubyeeko eriiso n’ava mu mbeera n’atandika okuyomba era nga yyo embaga wetwogerera esaziddwaamu

Embwa esitula omwenge

Ali Mivule

October 30th, 2014

No comments

Abagaazi b’omwenge gyebali nga bbo bayiiya engeri yonna gyebayinza okugufunamu ate nga tebatawaanye Kati mu Australia, omusajja ayigirizza embwa ye engeri y’okumuwereeza omwenge okuva mu firiigi Josh embwa eno agiyigirizza nga buli lw’ayogera nti awulira enyonta, ng’embwa eno edduka eggulawo firiigi, n’ejjayo eccupa ya bbiya […]

Eyeberese ku mbwa masasi gegamujjeeyo

Ali Mivule

October 28th, 2014

No comments

Omukazi asanze omusajja nga yeberese ku mbwa ye emundu yemuzizza engulu Alice omusajja ono amasanze mu nnimiro yaabwe nga yeemalira eggoga ku mbwa Omukazi ono akubye amasasi mu bbanga kyokka ng’ekyewunyisa nti omusajja ono tayimirizzaamu asigadde yefulubejja

Ani asinga ekirevu

Ali Mivule

October 28th, 2014

No comments

Kati ebiseera ebisinga tuwulidde empaka nyingi ezewunyisa okuli n’ezabasinga okunywa omwenge. Kuluno mu kibuga Portland mu ggwanga lya Amerika abasinga okubeera n’ebirevu ebiwanvu bebavuganyizza. Ba mandeevu abasoba mu 300 besowoddewo neboolesa ebirevu era buli musono gubadde wali okuvira ddala ku bilimu envi n’ebirala. Madison Rowley […]

Eyalimba nti Kiggala abikooye

Ali Mivule

October 27th, 2014

No comments

Omuwala abadde yalimba muganzi we  nti kiggala abikooye n’amubuulira amazima Omuwala ono agamba nti nga yakalaba muganzi we yamugamba nti kiggala mu by’okusaaga ng’amulemesa kyokka kyamuggwaako omusajja ate bwekyamusanyusa n’ayongera okumwagala Omuwala ono agamba nti wabula abadde akooye okwebuzabuuza ng’alina okwefuula atawulira Agambye nti oluusi […]

Omwana muzibe asuna ennanga

Ali Mivule

October 25th, 2014

No comments

Omwana omuto muzibe kyokka nga takuba nnanga bitooke by’ebigwa afuuse ekyelolerwa Omwana ono wa Myaka esatu nga kyokka ayagala nnyo okuwuliriza enyimba Omwaka guno emabega, Branko ono eyazaaliwa nga muzibe yatandika okukuba ennanga era buli lukya ayongera okuyiga .

Omuti gulwaanya n’omusajja

Ali Mivule

October 24th, 2014

No comments

Omusajja abadde akuba amasasi ku muti nga yegezaamu ataddeko kakokola tondeka nyuma nagwo bwegutandise okumuddiza Omusajja ono ategerekese nga Dave abadde ayiga kukuba mmundu kyokka ng’olutandise okukuba omuti ogumu nagwo negutandika okusuula amatabi naye tabadde mubi n’adduka Omuti guno gumaze negugwiira ddala w’abadde ayimiridde.

Ono tasaaga, asabye poliisi enjaga

Ali Mivule

October 24th, 2014

No comments

Abantu bamu bayitiriza okwemanyiiza ebintu ebimu  nga bwbeibulawo wakiri okwetta Kakati mu Georgia, omusajja gwebasibye okumala ebbanga amize ppini n’asaba omupoliisi okumuwa kunjaga Omusajja ono agambye nti ebirowoozo bibabdde bibula okumutta nga y’ensonga lwaki asabye omupoliisi enjaga Bamwongeddde ekibonerezo