Olwali

Ono ayoya toyileeti pepa

Ali Mivule

December 11th, 2014

No comments

Kati abakyaala abasinga bwebaba embuto balya ebintu ebyenjawulo, abamu balya bbumba ate abamu nebakomba ne ku vvu. Mu ggwanga lya Bungereza waliwo omukyaala atayosa lunaku nga talidde ku toyileti pepa. Omukyaala ono ow’emyaka 25 wa nzaalo 5 ategezezza nga olubuto bwelwaweza emyezi 2 y’atuuka nga […]

Kamulali amukozeeko

Ali Mivule

December 10th, 2014

No comments

Kubamu akafananyi ng’egenze emanju n’okozesa ekikokooma nga kiriko kamulali. Kati omusajja gwebateze kamulaali akubye omulanga n’okwetakula ebitaggwa olwa kamulali ono abadde amulagala okufaako obufi Akimukoze muganzi we agamba nti naye abadde amuyingiza obuzannyo bw’atategeera Omukazi ono okumanya tasaaga bino byonna abitadde ku katambi era kakalabwa […]

Agattiddwa n’embwa

Ali Mivule

December 9th, 2014

No comments

Omukyala enzaalwa ya Bungereza asazeewo okugattibwa mu bufumbo obutukuvu n’embwa ye. Amanda Rogers afumbiddwa embwa ye gyebayita sheba ku mukolo makeke ogubadde mu ggwanga lya Croatia Omuwala ono agambye nti embwa ye temuvangamu yadde olunaku olumu kale nga ky’avudde asalawo basibe empeta  

Aba Sauna babasobodde

Ali Mivule

December 5th, 2014

No comments

Mu ggwanga lya Austria , ab’obuyinza basazeewo kukozesa bakuumi ababeera obukunya okulaba abeekola obusolo mu zi sawuna Bano bagamba nti babadde tebasobola kukwata bantu basigala bwereere ng’ate bakozesa abambadde nga y’ensonga lwaki basazeewo okukozesa abali obukunya Abasirikale bano bassiddwa mu sauna mwenyini nga mwebatuula nabo […]

amukubye ekifi ky’enkoko

Ali Mivule

December 4th, 2014

No comments

Omusajja afunye obutakkaanya ne mukyala we ow’olubuto asazeewo kumukubisa kifi kya nkoko. Omusajja ono takomye awo n’akwata omugaati n’agunyigira ku feesi ya mukyala we Omusajja ono agambye nti mukyala we y’amusookerezza ng’amuzuukusa mu ntulo ng’amusiiga omugaati ku mumwa era akikozesezza busungu.

Omusajja akikoze munne

Ali Mivule

December 3rd, 2014

No comments

Omusajja eyasanze essajja nga likaka muwala we omukwano akimukoze. Omusajja ono tayombye na musajja ono ng’amuyise ewaka ku kijjulo n’okumugabira muwala we mu butongole Wabula  nga bagenda mu maaso n’okulya, omusajja ono amukyukisse n’atand’ka okumutulugunya okutuuka lw’amusse Omusajja ono ky’akoze kwekusiba musajja munne ku katebe […]

Endiga eyambala galubindi

Ali Mivule

December 2nd, 2014

No comments

Abantu balina obwagaazi oluusi obuleeta akabuuzo bbo bangi Kati waliwo omusajja agulidde endiga ye galubindi obutayokyebwa musana Endiga eno atambula nayo mu motoka ng’etudde mu mutto emabega nga yonna ekajjadde    

Omwana omuto akedde okukwana

Ali Mivule

December 1st, 2014

No comments

Edda abaana nga balwaawo okutandika eby’ekikulu. Ssi bweguli ennaku zino , mu ggwanga lya America, omwana ow’emyaka ena awandiise ebbaluwa ng’asuuta akawala bwebasoma era eno erese bangi nga bawunikiridde. Maama w’omwana ono Jennifer skinner, y’assizza ebbaluwa eno ku mukutu gwa yintaneti mu kwewunya kyokka wetwogerera […]

Ka pajaama kazze

Ali Mivule

December 1st, 2014

No comments

Waliwo ka pajama k’abasajja akakoleddwa nga kano omusajja bw’akambala taggwaamu maanyi ga kisajja Abakoze akawale kano beeba kkampuni ya Belly Armor esangibwa mu Manhattan Newyork. Ka pajama kano era kayamba abasajja abateeka amasimu mu mpale obutakosebwa masanyalaze gavaamu Ka pajama kano kagula doola 49 nga […]

Ono atijja n’akabizzi

Ali Mivule

December 1st, 2014

No comments

Mu ggwanga lya Amerika waliwo omukyaala agobeddwa ku nyonyi lw’akabizzi k’abadde atambula nako okufuuka ekizibu nga kaleekanira abalala. Abasabaze basoose kugumikiriza kerere wabula tekimalidde kabizzi kano nekoonona mu nyonyi era olw’ekivundu banji nebatabuka. Enyonyi olubadde okugwa okufuna abasaabaze abalala nakyaala ono n’alagibwa ave ku nyonyi […]