Amawulire

Ebya bavuganya tebintiisa

Ali Mivule

April 7th, 2014

No comments

Akulira akakiiko akalondesa, Eng Badru Kiggundu agamba nti eky’abavuganya ne bannakyeewa okusaba enkyuukakyuuka mu mateeka g’eby’okulonda tekisobola kumubuza tulo Abavuganya babadde batambula eggwanga nga basaba nti wabeewo enkyuukakyuuka mu mateeka g’ebyokulonda nga muno mwemuli okugoba akulira akakiiko Kiggundu agamba nti abavuganya baddembe okusaba byebagaala naye […]

Bannamateeka bagaala ssabalamuzi

Ali Mivule

April 7th, 2014

No comments

Bannamateeka wansi w’ekibiina ekibagatta bongedde okutabuka ku ky’okubulawo ssabalamuzi akakasiddwa. Kati mwaka mulamba ng’eggwanga teririna ssabalamuzi oluvanyuma lw’ekisanja kya Ben Odoki okuggwaako Ng’ayogerako eri bannamawulire, akulira bannamateeka Ruth Ssebatindira agambye nti kino kikosezza nnyo emirimu gy’ekitongole ekiramuzi Ssebatindira agamba nti bagenda kwekubira enduulu eri pulezidenti […]

Enkyukakyuuka mu poliisi- Ssenkumbi agenze Mbarara- Nabakooba akuziddwa

Ali Mivule

April 7th, 2014

No comments

Akulira poliisi Gen Kale Kaihura akoze enkyuukakyuuka mu basajja be. Abadde omwogezi wa poliisi Judith Nabakooba akuziddwa nga kati y’amyuka akola ku byobufuzi mu poliisi. Kati omwogezi wa poliisi ye Fred Enanga n’amyukibwa Polly Namaye okuva e Mbarara. Patrick Onyango kati ye mwogezi wa poliisi […]

Bulange Plaza yakuzimbibwa

Ali Mivule

April 7th, 2014

No comments

Obwakabaka bwa Buganda bukakasiza ng’omulimu gw’okuzimba ekizibe kya Bulange Plaza bwegutandika essaawa yona. Abantu ba Sssabasajja batandise dda okuleeta ebikozesebwa mu kuzimba era nga basoose bebe Kasanja, baleese magulu kkumi z’omusenyu. Ssentebe w’akakiiko ka Kasubi Masiro Gggwanga Mujje freeman Kiyimba agambye nti omulimu guno gusuubirwa […]

Amasasi gabakubye mu butanwa

Ali Mivule

April 7th, 2014

No comments

  Abavubuka 2 baddusiddwa mu ddwaliro ekkulu e Mulago nga biwala ttaka oluvanyuma lwokukubwa amasasi agawabye poliisi bwebadde egezaako okukwata omubbi wa kompyuta yomungalo ey’ekika kya ekika kya laptop. Mark Mujabi ne  Ramathan Werikhe beebalumiziddwa nga batuuze bomu Kito e  Bweyogerere. Ababiri bano bategeezezza nga amasasi […]

Omukazi ayokezza muggya we ow’olubuto

Ali Mivule

April 7th, 2014

No comments

Poliisi e  Katwe ekutte omukazi eyayokezza mujjawe ow’olubuto n’amutta ng’akozesa petulooli. Aduumira poliisi ye Katwe Ibrahim Saiga agamba  Aisha Nassali  nga mutuuze wali e  Sembuule Wankulukuku  yefudde omugenyi ewa Muggya we olwo n’amuyiira petulooli . Ebyembi, omukyala ono omuliro gwamutwaliddemu nga naye yayidde mu maaso. […]

Amataba gabalese bemagazza

Ali Mivule

April 7th, 2014

No comments

  Abatuuze bokukyalo  Lubuga wano e Kibuli gebakaaba gebakomba oluvanyuma lwa namutikkwa wenkuba afudembye mu kiro ekikeesezza olunaku olwaleero okuleka nga etikudde obusolya obusinga nga n’empya ezisinga nga zanjadde amazzi. Abamu ku batuuze betwogedde nabo obuzibu babutadde ku myaala egyazibikira nga kati basaba ab’ekitongole ekitwala […]

Poliisi yezoobye n’aba bodaboda e Mukono

Ali Mivule

April 7th, 2014

No comments

Abagoba ba bodaboda e Mukono bavudde mu mbeera nebaziba amakubo oluvanyuma lwa poliisi okukola ekikwekweto mweyoledde pikipiki ezisoba mu 100 ezaabo ababadde batisse akabindo saako naabo abatalina pamiti. Adumira poliisi ye Mukono Alfred Bagambaki agamba oluvanyuma lw’etteeka ku butatikka kabindo eri ababodaboda bano okuyita, bazze […]

Owe Luweero alondebwa nga 22-May

Ali Mivule

April 7th, 2014

No comments

Akakiiko k’ebyokulonda kalangiridde ennaku z’omwezi nga 22 omweezi ogwokutaano nga olunaku lw’okujulizaako ekifo ky’omubaka omukyaala owe Luwero. Okusunsula abanesimbawo kwakuberawo nga 5 ne 6 omwezi gwegumu olwo kampeyini zitojjere okuva nga 8 okutuusa nga 20 May. Ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda  Badru Kiggundu alabudde nti teri kusonda […]

Aba taxi beekalakaasa

Ali Mivule

April 7th, 2014

No comments

Abasaabaze bangi bakonkomalidde ku paaka enkadde oluvanyuma lw’abagoba ba taxi okwediima. Aba taxi bano bawakanya eky’okusengula siteegi za taxi eziwerera ddala 7 okuzitwaala mu paaka ya USAFI. Kino kiddiridde okufuna ebbaluwa okuva eri ekitongole kya Kampala capital city authority nga siteegi ezimu bwezigenda okusengulwa okusobola […]