Ebyobusuubuzi

Abasuubuzi ssibakusengulwa

Ali Mivule

April 24th, 2014

No comments

Ab’obuyinza mu kibuga kye Mbale bayimirizza eky’okusengula abasuubuzi bokunguudo okudda mu katale akapya mu kibuga kino. Kino kiddiridde abasuubuzi bano okulumba ofiisi ya  RDC Kachimate Shaban nga baagala abataase. Kati RDC yasabye tawuni clerk okuvaayo ne alipoota enambulukufu ku nsonga eno nga tanakiriz basubuzi bano […]

Gavumenti eremedde ky ky’okusabika amata

Ali Mivule

April 24th, 2014

No comments

Gavumenti ekyakalambidde ku ky’okuwera amata agatali malongose era nga simasabike. Minister omubeezi owamagana  Bright Rwamirama agamba gavumenti tejja kulinda kulaba nga omutindo gw’amata gusse  okubaako nekye’kola. Kino kiddiridde bananyini bimotoka by’amata okusimba ebimotoka byabwe nga bawakanya kino. Agamba amateeka gano gabaddewo okuva  mu 2007 wabula […]

Abatunda amata mu bipipa beekalakaasizza

Ali Mivule

April 21st, 2014

No comments

Abasuubuzi b’amata mu ggwanga bali mu kwekalakaasa nga bawakanya ekya gavumenti okulagira amata gonna agatundibwa mu ggwanga gabe nga galongoseddwa era nga gasabikiddwa mu bipaketi. Bano basazeewo okusimba ebimotoka byabwe eby’amata byonna okwetolola eggwanga. Edward Butera nga ye mwogezi w’ekibiina ekitaba abatunzi b’amata bano agamba […]

Obutale obulala musanvu bujja

Ali Mivule

April 21st, 2014

No comments

Ekitongole kya kampala capital city authority  kimalirizza enteekateeka z’okuzimba obutale 7 obw’omulembe mu division za Kampala etaano nga era bwakubeera ku mutindo gwakatale ke Wandegeya.. Omwogezi wa KCCA  Peter Kaujju agamba omulimu guno kwakuwemmenta obuwumbi 250 nga era abasuubuzi abasoba mu mitwalo 2 bakufuna webakolera. […]

Abantu bategedde yinsuwa

Ali Mivule

April 16th, 2014

No comments

Gavumenti egamba nti abantu bazze bategeera omugaso gwa yinsuwa Kino kyeyolekedde ku bantu abazze bafuna yinsuwa ng’obuwumbi 456 bwebwafunibwa okuva ku buwumbi 351 mu mwaka ogwa 2012 Bino biri mua lipoota ekoleddwa ku nsonga za Yinsuwa nga bwezatambula mu mwaka 2013 Akulira ekitongole ky’eggwanga ekitwaala […]

Poliisi etabukidde aba betingi

Ali Mivule

April 16th, 2014

No comments

Poliisi eyisizza amateeka amakakali ku kkampuni za bettingi. Kkampuni zino zonna kati zakuggulwangawo ssaawa nnya ez’okumakya era ziggale ku nnya ez’ekiro Akwanaganya poliisi ku Muntu wa bulijjo Anatooli Muleterwa agamba nti ekigendererwa kukuuma mirembe awali kkampuni zino Ono agamba nti kyo ekikwekweto ekiggala kkampuni zonna […]

Aba taxi baweze obutasengulwa

Ali Mivule

April 16th, 2014

No comments

Ba dereeva ba taxi baweze nga bwebatagenda kuva mu paaka enkadde okutuuka nga babafunidde webadda Abakulira Mustafa Mayambala agamba nti kikakata ku KCCA okubafunira webadda awagazi mu kifo ky’okubaisndika ebweru Mayambala agamab nti paaka ezoogerwaako ng’eya USAFI ntono nnyo okubamalawo KCCA yalangiridde nti yakutandika okuddabiriza […]

Abagoba ba baasi bakaaba

Ali Mivule

April 10th, 2014

No comments

Bannayuganda abavuga baasi ezigenda e Kenya bongedde okukandula ku maloboozi nga bagaala buyambi bwa gavumenti Okuva ssabiiti ewedde nga bagezaako kusisinkana bakulu mu gavumenti kyokka nga bakyalemereddwa Bano nno ssi basanyufu nti gavumenti ya Kenya tebaagala bavuge kiro ate nga babakak n’okwewandiisa mu bibiina by’obwegassi […]

Emiwendo gy’amasanyalaze gyetaaga kukyuuka buli kaseera

Ali Mivule

April 10th, 2014

No comments

Yadde nga gavumenti yagaana UMEME okwongeza ebbeeyi y’amasanyalaze, yeemu eno egamba nti ebisale bino bijja nga kwongezebwa okusinziira ku mbeera y’ebyenfuna mu ggwanga Ab’ekitongole ekya ERA bagaana UMEME okwongeza amasanyalaze wabula bongere kukendezaako shs 1. Omwogezi w’ekitongole kino Julius Wandera agamba nti ebisale bino birina […]

Aba konteyina basenguddwa- 2 bakwate

Ali Mivule

April 9th, 2014

No comments

Abantu 2 bakwatiddwa oluvanyuma lw’okugezaako okulmesa poliisi okusengula abasuubuzi ababadde bakolera kumpi n’essundiro ly;amafuta erya Petro city e Nateete . Amakya ga leero bawanyondo bakooti nga bayambibwaako poliisi basengudde obuyumba bw’abasuubuzi bano oluvanyuma lwa nanyini taka lino atannaba kutegerekeka  okuweebwa ekiragiro kya kkooti ekiragira nti […]