Ebyobusuubuzi

Poliisi etabukidde aba betingi

Ali Mivule

April 16th, 2014

No comments

betting

Poliisi eyisizza amateeka amakakali ku kkampuni za bettingi.

Kkampuni zino zonna kati zakuggulwangawo ssaawa nnya ez’okumakya era ziggale ku nnya ez’ekiro

Akwanaganya poliisi ku Muntu wa bulijjo Anatooli Muleterwa agamba nti ekigendererwa kukuuma mirembe awali kkampuni zino

Ono agamba nti kyo ekikwekweto ekiggala kkampuni zonna eziriwo mu bumenya bw’amateeka kyakugenda mu maaso

Olunaku lwajjo, kkampuni eziwerera ddala munaana zeezagaddwa lwabutabaawo mu mateeka