Olwali

Ono omwana yamulemera mu lubuto

Ali Mivule

February 13th, 2014

No comments

foetus

Ebyewunyisa tebiggwa munsi naye mu ggwanga lya Brazil namukadde ow’emyaka 84 asangiddwamu omwana atanazalibwa mu lubuto lwe nga yakamalamu emyaka 44.

Namukadde ono agamba nti yali amanyi olubuto lwavaamu kubanga omwana yali takyekyuusa.

Wabula yatandise okulumwa ebisa  nga ate ku kyalo tekulu basawo batendeke kwekusalawo okwolekera eddwaliro lya Porto Nacional  eno gyebakamutemedde nga bwalina omwana munda.

Ono olumaze okumanya kino ategezezza nti kikafuuwe okugyamu omwana we yadde nga yafiira munda.