Olwali

Omulwadde omukyamu alongoseddwa obwongo.

Ivan Ssenabulya

March 2nd, 2018

No comments

Bya musasi waffe.

Mu gwanga lya Kenya waliwo abasawo abagobeddwa, nga kigambibwa nti ono aze kumulwadde omukyamu n’amulogoosa obwongo, kyoka nga sigwabadde alina okukolako.

Amawulire getufunye okuva ku mukutu gwa Standard media ogwa Kenya gulaga nga  abagobedwa bwekuliko  abakola mukifo omulongosebwa abantu, ko ne nurse  nga bano bebade bakola mukiro ekyo webalongoserezza omulwadde ono.

Akulira edwaliro lino Lily Koros agamba nti bano mubutanwa bakutte abalwadde basatu abakyamu nebabatwala mu  ”Sweeta”  oba  theater  nebabikula obwongo, okubasalamu ebizimba mu bwongo, kyoka bagenze okwetegereza nga bali ku bantu bakyamu

Mukaseera kano bakyafuba kulaba nga ababikuddwa obwongo mu bukyamu basuuka ebisigadde banaawoza