Olwali

KKapa eyimba oluyimba lw’eggwanga

Ali Mivule

May 29th, 2014

No comments

patriotic cat

Abantu bangi bagaala nnyo amawanga gaabwe naye wali olowoozezza ku bisolo.

Kati mu ggwanga lya Russia, ka kkapa akawulidde ng’oluyimba lw’eggwanga nga lukubwa kayimiridde nekegatta ku bayimba okutuusa oluyimba bweruwedde

Nanyini kkapa eno agambye nti na ye yewunyizza kubanga tebalina TV nga kirabika kabadde kalaba abayimba nga kayisa amaaso mu ddirisa

Omusajja ono agambye nti lweyasooka okulaba ka kkapa kano yalowooza nti kali ku ttengerere kyokka nga kati yakamanyiira