Olwali

Kano ka Kkapa kakoowa

Ali Mivule

February 12th, 2014

No comments

cat

Ekigambo kwetonda kizibu nyo era bangi kibalema.

Naye wali wevuddemu newetonda kyokka omuntu n’atakusonyiwa.

Kati yyo kkapa eyasazeewo okwetondera ginaayo n’egaana okugisonyiwa kata afe ekisungu.

Kkapa eno esoose kukkakkana neyekulukuunya ku ginaayo mu ngeri y’okwetonda kyokka nga eringa efuuyira endiga omulere.

Kalabye biri bityo nekecanga, akabadde ketonda ate nekatandika okukakwagula mu ngeri y’okulaga essungu.