Ebyobusuubuzi

Uganda efiirwa buwumbi mu bubbi

Ali Mivule

April 7th, 2014

No comments

Ugandan money

Kizuliddwa nga Uganda bwefiirwa obuwumbi obuli eyo mu 500 buli mwaka olw’ababalirizi b’ebitabo mu makampuni agenjawulo okukyanga ebitabo.

Okusinziira ku akulira ettendekero ly’ababalirizi b’ebitabo mu ggwanga  Timothy Etoori, amancoolo gano era gafiiriza amakampuni ssente eziweza 5 ku kikumi.

Bw’abadde ayogerera mu lukungaana lwa banamawulire nga yetegekera olukungaana lwababazi b’ebitabo wiiki ejja, Etoori agambye nti okubulankanya ssente kuli ne mu makampuni ga gavumenti n’agobwananayini.

Ono agamba nti buno nabwo buli bwa nguzi obulina okulwanyisibwa ennyo.