Ebyobusuubuzi

Tabamiruka w’abakola mu bya banka wa leero.

Ivan Ssenabulya

July 17th, 2018

No comments

Bya Ben Jumbe.

 

Olunaku olwaleero ssabaminister we gwanga lya uganda Dr. Ruhakana Rugunda asuubirwa okuggulawo tabamiruka wabakola mu bya banka , nga ono amanyiddwa nga Annual Bankers Conference ow’okubeera wano mu Kampala.

Bano buli mwaka batuula okwebulirira ku nsonga ezibakosa nga abakola mu by’ensimbi, era nga kaakano guno gugenda kuba mulundi gwakubiri.

Twogedeko ne ssentebe w’ekibiina ekibagatta Patrick Mweheire  nagamba nti ezimu kunsonga ezibakosa enaku zino kwekuba  nti abasubuzi kibamenya okutandikawo business mu uganda n’okuzidukanya, kale nga kino kikendeeza kunsimbi zebafuna.

Ono agamba nti kati munsisinkano nga eno mwebagenda okusinziira babeeko byebakaanyako.