Ebyobusuubuzi

Ssabuuni wa Meditex alongoseddwa

Ali Mivule

April 7th, 2014

No comments

Meditex

Abali mu byobusuubuzi bagenda mu maaso n’okuyiiya okulaba nti bawereeza abantu baabwe obulungi

Aba Mukwano industries kati nno tebasigadde mabega nga bakoze ennongosereza mu ssabuuni wa Meditex medicated soap.

Ssabbuuni ono ng’atta obuwuka, kati agenda kusobola okuvuganya ne sabbuuni omulala okuva mu mawanga ga Rwanda, Kenya, Tanzania, South Sudan ne Democratic Republic of Congo.

Omu ku bakulu mu kkampuni ya Mukwano, Tonny Gadhole agamba nti ssabbuuni ono atereeza olususu ng’atta obuwuka bwonna

Gadhole agamba nti kino kikoleddwa mu kawefube w’okusigala nga baweereza abantu baayo ebisinga okuba ebirungi