Ebyobusuubuzi

Siteegi za Taxi endala zakusengulwa

Ali Mivule

July 15th, 2014

No comments

Taxi drivers strike

Siteegi za taxi endala okuva mu paaka empya zigenda kusengulwa, nga kuno kuliko eya Kibibi, Bulo, Butambala ne Gomba , nga bano kakano baakugenda mu park ya Kisenyi mu nnaku ttaano zokka,

Ate bbo abakolera ku siteegi  ya Hoima ne  kiboga bagenda mu paaka ya Namayiba.

Akulira ebikwekweto bya KCCA  Kituuma Rosoke agambye nti bano balina okukozesa ennaku zino 5 okwamuka ebifo bino baleme kulinda kugobaganyizibwa poliisi

Wabula abagoba ba taxi betwogedeko nabo batutegeezeza nti beetagayo akadde akalala okwekungaanya balyoke bagenda.