Ebyobusuubuzi

Sipiika ayagala bannayuganda basige mu gwanga lyabwe.

Ivan Ssenabulya

July 2nd, 2018

No comments

Bya Kyeyune moses.

Sipiika  wa Palamenti  Rebecca Kadaga,asabye govumenti okuddamu yetegereze ebisikiriza byewa bamusiga, kino kiyambe nebannayuganda abali e bunayira okufuna amaanyi okudda kubutaka okusiga ensimbi zaabwe.

Sipiika okwogera bino abadde mu Canada, mumwoleso gw’ebyobusubuzi ogubadde mu kibuga Toronto.

Ono agamba nti amateeka amajja gagwana gasobozese bankuba kyeyo okwanguyirwa okusiga  mu  gwanga lyabwe.

Mukaseera kano  enkizo eweebwa abagwira bokka, bannayuganda  nebatafibwako.