Ebyobusuubuzi

Omwalo gwe Bukasa gwakuggwa mu 2020.

Ivan Ssenabulya

February 15th, 2018

No comments

Bya samuel Ssebuliba.

 

Ministry ekola ku by’okuzimba etegeezeza nga bwesuubira okumaliriza okuzimba omwalo gwe  Bukasa ogw’okulukalu obutasukka mwaka 2020.

Kinajkirwa nti omulimo guno ogw’okumalawo  obukade  bwa dollar 180  guludde nga tegutandika nga kino kyava ku batuuze abaali kutaka okusooka okugaana okusenguka

Bwabadde ayanja entekateeka egenda okugobererwa mu kuzimba omwalo guno minister – Eng. Ntege Azuba  agambye nti buli kimu kitambula nga bwekyategekebwa, era nga wegunakonera omwaka 2020 nga ekifo kino kitandise okukola.

Kinajukirwa nti omwalo guno ogw’okulukalu gugenderedwamu kuyamba kukendeeza ku nsimbi ezikozesebwa mukutambuza ebintu ku luguudo okuva e Kenya okutuuka wano mu uganda