Ebyobusuubuzi

Kadaga alonze akakiiko okunonyereza ssente z’abasubuzi be S. Sudan

Kadaga alonze akakiiko okunonyereza ssente z’abasubuzi be S. Sudan

Ivan Ssenabulya

March 7th, 2019

No comments

Bya Ritah Kemigisa

Omukubiriza wa palamenti Rebecca Kadaga atonzeewo akakiiko katandike, okunonyereza ku nsimbi ezalina okuliyirira abasubuzi, obuwumbi 151.

Ssente zino kigambibwa nti zakuliyirira abasubuzi 10 bokka, abatwala ebyamaguzi byabwe mu gwanga lya south Sudan, wabula gavumenti yaayo netabasasula.

Kati akakiiko kano kagenda kuubirizibwa omubaka omukyala owa district ye Kyankwazi Ann Maria Nankabirwa, nga kalagiddwa okwekenneya olukalala lwabasubuzi bonna abakosebwa.

Bano era bazkuzuula, obanga ssente zino zinaganyula abasubuzi benyini, abakosebwa, nga bakuleeta alipoota mu bbanga ya wiiki 2.

Kinajjukirwa nti gwali mwaka gwa 2016, gavumenti ya Uganda ne ginaayo eya South Sudan nebateeka, omukono ku ndagaano, era nebeyama okusasula abasubuzi abakosebwa.