Ebyobusuubuzi
Ebbeyi y’ebinyebwa yagudde
Bya Sadat Mbogo
Abalimi b’ebinyeebwa mu district ey’e Gomba bakaaba olw’emiwendo gy’ekirime kino okukka ebbeeyi.
Abamu ku balimi okuli Bbosa Kato ku kyalo Mirambi, bagamba nti omwaka oguwedde babadde batunda kilo y’ebinyeebwa ku 3,500 naye kibabuuseeko okulabanga bbeyi yagudde okutuuka ku 2,300.
Bagamba obuzibu buvudde ku kyabutaba na katale kamala ssonga mulimu ne bannaabwe abatasobodde kutereeza mutindo gwa kirime kino.